Abalam 9:2 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya2 “Mubuuze kaakano ng’abatuuze b’e Sekemu bonna bawulira nti, ‘Kiki ekisingako obulungi? Batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuganga oba omuntu omu y’aba abafuganga?’ Mujjukire nti ndi wa musaayi gwammwe.” See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI2 “Mbeegayiridde, mwogere abantu bonna ab'e Sekemu nga bawulira; mubabuuze nti, ‘kiriwa ekisinga obulungi; batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu (70), okubafuganga oba omu okubafuganga?’ Era mujjukire nga nze ndi wa musaayi gwammwe.” See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya2 nti Mbeegayiridde, mwogerere mu matu g'abasajja bonna ab'e Sekemu nti Ekisinga obulungi gye muli kiruwa batabani ba Yerubbaali bonna, be bantu ensanvu, okubafuganga, nantiki omu okubafuganga? era mujjukire nga nze ndi wa ku magumba gammwe n'omubiri gwammwe. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU2 “Mubuuze abantu bonna ab'e Sekemu nti: ‘Kiruwa kye musinga okwagala, bazzukulu ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuga oba omu okubafuga?’ Mujjukire nti nze ndi musaayi gwammwe ddala.” See the chapterLuganda DC Bible 20032 okubuuza abantu b'e Sekemu nti: “Kiruwa kye musinga okusiima? Okufugibwanga batabani ba Yerubbaali ensanvu, oba omu okubafuganga? Mujjukire nga nze ndi wa musaayi gwammwe.” See the chapterLuganda Bible 20032 okubuuza abantu b'e Sekemu nti: “Kiruwa kye musinga okusiima? Okufugibwanga batabani ba Yerubbaali ensanvu, oba omu okubafuganga? Mujjukire nga nze ndi wa musaayi gwammwe.” See the chapter |