Abalam 7:8 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya8 Awo Gidyoni n’asigaza abalwanyi be ebikumi ebisatu, bali abalala n’abakuŋŋaanyaako emmere n’amakondeere gaabwe, n’abalagira ne beddirayo ewaabwe. Olusiisira lw’Abamidiyaani lwamuli kyemmanga mu kiwonvu. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI8 Gidyoni n'asindika Abaisiraeri bonna baddeyo ewaabwe, okuggyako ebisatu (300), be yasigala nabo, ne basigaza eby'okulya byonna n'eŋŋombe; n'olusiisira lwa Midiyaani lwali wansi mu kiwonvu. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya8 Awo abantu ne batwala ebyokulya mu ngalo zaabwe, n'amakondeere: n'asindika abasajja bonna aba Isiraeri buli muntu mu weema ye, naye n'abeera n'abasajja abo ebikumi bisatu: n'olusiisira lwa Midiyaani lwali wansi we mu kiwonvu. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU8 Gidewoni n'asigazaawo abasajja bikumi bisatu bokka, ne batwala emmere n'eŋŋombe ebibadde ebya bali; abalala bonna n'abalagira baddeyo mu weema zaabwe. Olusiisira lwa Midiyaani lwamuli awo wammanga mu kiwonvu. See the chapterLuganda DC Bible 20038 Gidiyoni n'asindika Abayisirayeli bonna baddeyo ewaabwe, okuggyako ebikumi ebisatu, be yasigala nabo, ne basigaza ebyokulya byonna n'eŋŋombe. See the chapterLuganda Bible 20038 Gidiyoni n'asindika Abayisirayeli bonna baddeyo ewaabwe, okuggyako ebikumi ebisatu, be yasigala nabo, ne basigaza ebyokulya byonna n'eŋŋombe. See the chapter |