Abalam 7:1 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya1 Awo Gidyoni gwe baakazaako erya Yerubbaali, ne be yali nabo bonna, ne bakeera mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; Olusiisira lwa Bamidiyaani lwali mu bukiika obwa kkono mu kiwonvu, kumpi n’olusozi Mole. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI1 Awo Yerubbaali, ye Gidyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka ku makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; n'olusiisira lwa Midiyaani lwali mu kiwonvu ku luuyi lwabwe olw'obukiikakkono ku mabbali g'olusozi Mole. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya1 Awo Yerubbaali, ye Gidyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi: n'olusiisira lwa Midiyaani lwali ku luuyi lwabwe olw'obukiika obwa kkono, ku mabbali g'olusozi Mole, mu kiwonvu. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU1 Ku makya Yerubbaali (ye Gidewoni) bwe yazuukuka, n'abantu bonna abaali naye, n'asiisira kumpi ne Eni-Karodi; lwo olusiisira lwa Midiyaani nga lubali mu kiwonvu, kumpi n'olusozi More. See the chapterLuganda DC Bible 20031 Awo Yerubbaali, ye Gidiyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bazuukuka mu makya, ne basiisira ku lusozi Harodi. Olusiisira lw'Abamidiyaani lwali mu kiwonvu, ku ludda lwabwe olw'ebukiikakkono ku mabbali g'Olusozi More. See the chapterLuganda Bible 20031 Awo Yerubbaali, ye Gidiyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bazuukuka mu makya, ne basiisira ku lusozi Harodi. Olusiisira lw'Abamidiyaani lwali mu kiwonvu, ku ludda lwabwe olw'ebukiikakkono ku mabbali g'Olusozi More. See the chapter |