Online Bible

- Advertisements -




Abalam 4:6 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

6 N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

6 Awo n'atumya Balaki mutabani wa Abinoamu mu kibuga Kedesu eky'omu Nafutaali, n'amugamba nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri, akulagidde nti, ‘Twala abasajja omutwalo gumu (10,000), ku b'omu Kika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni, bakuŋŋaanire ku Lusozi Taboli.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

6 N'atuma n'ayita Balaki, mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesunafutaali, n'amugamba nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, talagidde nti Genda mukunganire eri olusozi Taboli, otwale naawe abasajja kakumi ku baana ba Nafutaali ne ku baana ba Zebbulooni?

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

6 Yatumya Baraki mutabani wa Abinowamu ow'e Kedesi mu Nafutali, n'amugamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli si yalagidde? Genda okunge abasajja lukumi okuva mu bantu ba Nafutali ne mu bantu ba Zebuluni ogende nabo ku lusozi Tabori.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

6 Awo n'atumya Baraki mutabani wa Abinowamu mu Kibuga Kedesi eky'omu Nafutaali, n'amugamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli akulagidde nti: ‘Twala abasajja omutwalo gumu ku b'omu Kika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni, bakuŋŋaanire ku Lusozi Tabori.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

6 Awo n'atumya Baraki mutabani wa Abinowamu mu Kibuga Kedesi eky'omu Nafutaali, n'amugamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli akulagidde nti: ‘Twala abasajja omutwalo gumu ku b'omu Kika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni, bakuŋŋaanire ku Lusozi Tabori.

See the chapter Copy




Abalam 4:6

Follow us:

Advertisements


Advertisements