Online Bible

- Advertisements -

Abalam 13:20 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

20 Omuliro bwe gwava mu Kyoto okugenda eri eggulu, malayika wa Mukama Katonda n’akkira mu muliro gw’ekyoto. Manowa ne mukazi we bwe baamulaba, ne bagwa wansi ne bavuunama ng’obwenyi bwabwe butuukira ddala ku ttaka.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

20 Awo olwatuuka omuliro bwe gwava ku kyoto ne gulinnya mu bbanga, malayika wa Mukama n'ayambukira mu muliro ogwo, Manowa ne mukazi nga balaba, ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

20 Kubanga olwatuuka omuliro bwe gwava ku kyoto ne gulinnya mu ggulu, malayika wa Mukama n'ayambukira mu muliro ogw'oku kyoto: Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira; ne bavuunama amaaso gaabwe.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

20 Omuliro bwe gwava ku mwaliiro ne gwambuka mu ggulu, Malayika w'Omukama naye n'alinnyira muli. Manowa ne mukazi we bwe baakiraba, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe ku ttaka.

See the chapter Copy

Luganda DC Bible 2003

20-21 Ennimi z'omuliro bwe zaava ku alutaari, ne zitumbuka waggulu, Manowa ne mukazi we ne balaba malayika wa Mukama ng'ayambuka mu ggulu, ng'ayambukira mu nnimi ezo ez'omuliro. Awo Manowa n'amanya ng'oyo malayika wa Mukama. Ye ne mukazi we ne bavuunama ng'obwenyi butuukira ddala ku ttaka. Malayika wa Mukama teyaddamu kubalabikira.

See the chapter Copy

Luganda Bible 2003

Abalam 13:20

Follow us:

Advertisements

Advertisements