Abalam 13:19 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya19 Awo Manowa n’addira akabuzi akato, n’ekiweebwayo eky’empeke, n’abiwaayo nga ssaddaaka ku lwazi eri Mukama Katonda. Ne wabaawo eky’ekyewuunyo nga Manowa ne mukazi we balaba. See the chapterEKITABO EKITUKUVU BAIBULI19 Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama; malayika n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga balaba. See the chapterEkitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya19 Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama: ne (malayika) n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga bamutunuulira. See the chapterBIBULIYA ENTUKUVU19 Manowa n'akwata akabuzi, n'ekitone eky'obuwunga, n'abissa ku lwazi, n'abiweereza Omukama oyo akola ebyewuunyisa. Manowa ne mukazi we ne batunula balabe. See the chapterLuganda DC Bible 200319 Awo Manowa n'akwata embuzi ento n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'abiweerayo ku lwazi eri Mukama akola ebyamagero. See the chapterLuganda Bible 200319 Awo Manowa n'akwata embuzi ento n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'abiweerayo ku lwazi eri Mukama akola ebyamagero. See the chapter |