Online Bible

- Advertisements -




Abalam 13:16 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

16 Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Manowa nti, “Ne bwe nnaasigala nammwe, sijja kulya ku mmere yammwe. Wabula bwe munaateekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, mukiweeyo eri Mukama.” Mu kiseera ekyo Manowa teyamanya nga gwe yali ayogera naye yali malayika wa Mukama.

See the chapter Copy

EKITABO EKITUKUVU BAIBULI

16 Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti, “ Nnebwenalindako sijja kulya ku mmere yo, naye bw'oba oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira kukiwa Mukama.” Manowa yali tamanyi nga oyo yali malayika wa Mukama.

See the chapter Copy

Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya

16 Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti Newakubadde ng'onondwisaawo sijja kulya ku mmere yo: era bw'oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira okukiwa Mukama. Kubanga Manowa yali tamanyi nga ye malayika wa Mukama.

See the chapter Copy

BIBULIYA ENTUKUVU

16 Malayika w'Omukama n'ayanukula nti: “Ne bwe munansigaza wano, sijja kulya migaati gyo; naye oba oyagala okukola ekitambiro ekyokye, kiweereze Mukama.” Manowa yali tamanyi nti yali Malayika wa Mukama.

See the chapter Copy




Abalam 13:16

Follow us:

Advertisements


Advertisements