Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Zabbuli 1 - Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya


EKITABO 1

1 Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula ku ntebe y'abanyooma.

2 Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.

3 Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, Era amalagala gaagwo tegawotoka; Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.

4 Ababi si bwe batyo; Naye bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula.

5 Ababi kyebaliva balema okuyimirira mu musango, Newakubadde abalina ebibi mu kkuŋŋaaniro ly'abatuukirivu.

6 Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu: Naye ekkubo ly'ababi liribula.

Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies