Et 17 - Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya1 Tosalanga okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wo ente newakubadde endiga eriko obulema oba ekitali kirungi kyonna: kubanga ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo. 2 Bwe wanaalabikanga wakati wo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo Mukama Katonda wo z'akuwa, omusajja oba mukazi, akola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, ng'asobya ku ndagaano, 3 era ng'agenze n'aweereza bakatonda abalala n'abasinza, oba njuba, oba mwezi, oba ku ggye ery'omu ggulu, bye ssaalagira; 4 ne bakubuulira era ng'okiwulidde, n'olyoka onyiikiranga okubuuliriza, era, laba, bwe kinaabanga eky'amazima, ekigambo ne kitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekiri bwe kityo kikolerwa mu Isiraeri; 5 n'olyoka ofulumyanga omusajja oyo oba mukazi oyo, abakoze ekigambo ekyo ekibi, awali enzigi zo, omusajja oba mukazi; kale onoobakubanga amayinja bafe. 6 Olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba bajulirwa basatu, agenda okufa bw'anattibwanga; olw'akamwa k'omujulirwa omu tattibwanga. 7 Omukono gw'abajulirwa gwe gunaasookanga okumubaako okumutta, omukono gw'abantu bonna ne gulyoka gumubangako. Bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi wakati wo. 8 Bwe wanaabangawo ensonga ekulema okugisalira omusango, nga bavunaana omusaayi n'omusaayi, nga bavunaana ensonga n'ensonga, era nga bavunaana omuggo n'omuggo, nga bawakanira ebyo munda w'enzigi zo: kale onoogolokokanga, n'oyambuka mu kifo Mukama Katonda ky'alyeroboza; 9 n'ojja eri bakabona Abaleevi, n'eri omulamuzi anaabangawo mu nnaku ziri: n'obuuza; era bo banaakulaganga ensala y'omusango: 10 naawe onookolanga ng'omusango bwe gunaabanga, gwe banaakulaganga nga bayima mu kifo Mukama ky'alyeroboza; era onookwatanga okukola nga byonna bwe binaabanga bye bakuyigiriza: 11 ng'etteeka bwe linaabanga lye banaakuyigirizanga, era ng'ensala bw'eneebanga gye banaakubuuliranga, onookolanga bw'otyo: tokyamanga okuva mu musango gwe banaakulaganga okugenda ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono. 12 Era omuntu anaakolanga eby'ekyejo, nga tawulira kabona ayimirira eyo okuweerereza mu maaso ga Mukama Katonda wo, oba mulamuzi, omuntu oyo anaafanga: era onoggyangawo obubi obwo mu Isiraeri. 13 Era abantu bonna banaawuliranga ne batya, ne batakola nate bya kyejo 14 Bw'oliba ng'otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, n'ogirya, n'otuula omwo; n'oyogera nti Nassaawo kabaka okunfuga, era nga n'amawanga gonna aganneetoolodde; 15 tolemanga kussaawo oyo okuba kabaka okukufuga, Mukama Katonda wo gw'alyeroboza: omu ku baganda bo gw'olissaawo okuba kabaka okukufuga: si kirungi ggwe okussaawo munnaggwanga okukufuga, atali muganda wo. 16 Kyokka teyeefuniranga mbalaasi nnyingi, so tazzangayo bantu mu Misiri, alyoke yeefunire embalaasi ennyingi: kubanga Mukama yabagamba nti Temuddangayo nate mu kkubo eryo okuva kaakano. 17 So teyeefuniranga bakazi bangi, omutima gwe gulemenga okukyuka: so teyeefuniranga ffeeza nnyingi nnyo newakubadde zaabu. 18 Awo olulituuka bw'alituula ku ntebe y'obwakabaka bwe, alyewandiikira etteeka lino mu kitabo, ng'aliggya mu ekyo ekiri mu maaso ga bakabona Abaleevi: 19 era kinaabeeranga gy'ali, era anaakisomangamu ennaku zonna ez'obulamu bwe: ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby'etteeka lino n'ebiragiro bino okubikolanga: 20 omutima gwe gulemenga okugulumizibwa ku baganda be, era alemenga okukyama okuva mu kiragiro okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono: alyoke awangaale ennaku nnyingi mu bwakabaka bwe, ye n'abaana be, wakati mu Isiraeri. |
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.
Bible Society of Uganda