Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Zabbuli 1 - Luganda DC Bible 2003


EKITABO EKIBEREBERYE (Zabbuli 1–41 ) Essanyu ery'amazima

1 Wa mukisa oyo atakolera ku magezi ga babi oba okukwata ekkubo ly'aboonoonyi, wadde okutuula awamu n'abanyoomi.

2 Wabula amateeka ga Katonda ge gamusanyusa, era g'alowoozaako emisana n'ekiro.

3 Afaanaanyirizibwa n'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo z'amazzi, ogubala ebibala mu kiseera kyabyo, era ogutawotoka makoola. Mu buli ky'akola aba wa mukisa.

4 Naye ababi si bwe bali. Bafaanaanyirizibwa n'ebisusunku ebifuumuulibwa embuyaga.

5 Ababi abo kyebaliva balemwa okugumira olunaku olw'okusalirwako omusango, wadde okwetaba awamu n'abatuukirivu.

6 Kubanga Mukama aluŋŋamya abatuukirivu. Naye ababi balizikirira.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies