Yuda 1 - Luganda DC Bible 20031 Nze Yuda omuweereza wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, mpandiikira mmwe abaayitibwa, ne mwagalibwa Katonda Kitaffe, era abakuumirwa Yesu Kristo. 2 Okusaasira, n'emirembe era n'okwagala byeyongere mu mmwe. Abayigiriza ab'obulimba 3 Abaagalwa, bwe nali nga nfuba okubawandiikira ku kulokolebwa kwaffe ffenna, ne ndaba nga nteekwa okubawandiikira, nga mbakubiriza okulwanirira okukkiriza, abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu ne biggwa. 4 Kubanga abantu abamu abatatya Katonda bebbirira ne beetabika mu mmwe. Be bo abaayogerwako edda nga bwe balisalirwa omusango okubasinga. Be bantu abafuula ekisa kya Katonda ekyekwaso eky'okukolerako eby'obwenzi, ne beegaana Omufuzi waffe omu yekka, era Mukama waffe Yesu Kristo. 5 Newaakubadde bino byonna mwabimanya dda, njagala okubajjukiza nti Mukama bwe yamala okuggya abantu be mu Misiri, oluvannyuma yazikiriza abo abatakkiriza. 6 Ne bamalayika abaasukka obukulu bwabwe we bukoma, ne bava mu kifo kyabwe, mujjukire nti Katonda abakuumira mu kizikiza nga basibiddwa enjegere, ze batalivaamu ennaku zonna, okutuusa olunaku olukulu olw'okusalirako omusango lwe lulituuka. 7 Era mu ngeri ye emu, ab'omu Sodoma ne Gomora, n'ebibuga ebirala ebyali biriraanyeewo, abaayenda, ne bakola ebitali bya buwangwa, baaweebwa ekibonerezo eky'omuliro ogutazikira, ne baba ekyokulabirako. 8 Bano nabo bwe bali. Balimbwalimbwa ebirooto byabwe, ne bamalamu emibiri gyabwe ekitiibwa, ne banyooma obuyinza bwa Katonda, era ne bavuma abeekitiibwa ab'omu ggulu. 9 Sso nga Mikayeli ssaabamalayika, bwe yali ayomba ne Sitaani, nga bakaayanira omubiri gwa Musa, teyaguma kumugamba bigambo bivuma ng'amusalira omusango, wabula yagamba nti: “Katonda akunenye!” 10 Kyokka abo, byonna bye batategeera babivuma; ate ebyo bye bategeera mu buwangwa bwabwe ng'ensolo ezitalina magezi, bye bibazikiriza. 11 Zibasanze, kubanga ekkubo bakutte lya Kayini. Olw'okwagala ebyokufuna, bagudde mu nsobi ya Balamu. Bajeemye nga Koora, ne bazikirira nga ye. 12 Embaga zammwe mwe mulagira okwagalana, baziziyiza okugenda obulungi. Bo bajjirira kulya, nga tebakwatibwa na nsonyi okwefaako bokka. Bali ng'ebire ebitwalibwa embuyaga, ne bitavaamu nkuba. Bali ng'emiti egitaliiko bibala mu makungula, egifiiridde ddala, ne gisimbulwa n'emirandira. 13 Bali ng'amayengo g'ennyanja esiikuuse: babimba ejjovu ly'ebikolwa byabwe eby'ensonyi. Bali ng'emmunyeenye ezenjeera, bategekeddwa okubeeranga mu kizikiza emirembe n'emirembe. 14 Be bo Enoka ow'omusanvu okuva ku Adamu, be yayogerako bwe yalanga nti: “Laba, Mukama ajja n'enkumi n'enkumi z'abatukuvu be, 15 okusalira abantu bonna omusango gusinge bonna abatatya Katonda, olwa byonna bye baakolera mu butamutya, n'olw'ebigambo byonna ebibi, aboonoonyi abatamutya bye baamwogerako.” 16 Be bo abatolotooma, abeemulugunya, era abagoberera okwegomba kwabwe okubi. Akamwa kaabwe koogera ebigambo eby'okwekulumbaza, era bawaanawaana abalala, olw'okwegasa bennyini. Okulabula n'okubuulirira 17 Naye mmwe abaagalwa, mujjukire ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo. 18 Baabagamba mmwe nti: “Mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abasekerera abakkiriza, era abagoberera okwegomba kwabwe okubi, nga tebassaamu Katonda kitiibwa.” 19 Be bo abaleeta okwawukana, abeemalidde ku by'ensi, era abatalina Mwoyo Mutuukirivu. 20 Naye mmwe abaagalwa, okukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo kwe kuba kubeera omusingi kwe muzimbira obulamu bwammwe, nga musinza Katonda mu Mwoyo Mutuukirivu. 21 Munywerere ku kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo okubatuusa mu bulamu obutaggwaawo. 22 Abo ababuusabuusa mubakwatirwe ekisa. 23 Abalala mubawonye, nga mubasika mu muliro; n'abalala mubeegendereze mu kubakwatirwa ekisa, nga mukyawa n'ekyambalo ekyonooneddwa empisa embi. Okutendereza Katonda 24 Oyo ayinza okubakuuma ne mutagwa, n'okubatuusa w'ali mu kitiibwa kye nga temuliiko bbala, era nga musanyuka, 25 oyo Katonda omu yekka, atulokola ng'ayita mu Yesu Kristo Mukama waffe, abe n'ekitiibwa, n'obukulu, n'obufuzi, n'obuyinza okuva edda n'edda, ne kaakano, n'emirembe gyonna. Amiina. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda