Tito 3 - Luganda DC Bible 2003Okuwabula abakkiriza 1 Jjukizanga abantu bo beegenderezenga abafuzi n'ab'obuyinza, babawulirenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. 2 Bakuutire balemenga kwogera bubi ku muntu n'omu, era beewalenga okuyomba; babenga bakkakkamu, era bassengamu abantu bonna ekitiibwa, 3 kubanga naffe ffennyini edda twali basirusiru era bajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n'amasanyu aga buli ngeri. Twali ba ttima era ab'obuggya, nga tukyayibwa, era nga tukyawagana. 4 Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe, n'okwagala kwe, kw'ayagalamu abantu bwe byalabika, 5 n'atulokola, si lwa bikolwa byaffe ebirungi bye twakola, wabula lwa kusaasira kwe. Yatulokola ng'atunaaza, ne tuzaalibwa omulundi ogwokubiri, ne tufuuka abaggya olwa Mwoyo Mutuukirivu, 6 gwe yatubunduggulako ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. 7 Ekyo yakikola tulyoke tutukuzibwe olw'ekisa kye, era tuweebwe obulamu obutaggwaawo, bwe tusuubira. 8 Ekyo kya mazima. Era ebyo njagala obikakasizenga ddala, abakkiriza Katonda balyoke beemalirenga ku kukola ebikolwa ebirungi. Ebyo birungi era bigasa abantu. 9 Naye weewalenga empaka ez'obusiru, n'okukaayana ku nkalala z'amannya g'abajjajja b'abantu. Era weewalenga okuwakanira ebikwata ku Mateeka. Kubanga ebyo tebiriiko kye bigasa, era bya bwereere. 10 Oyo aleetera abantu obutassa kimu, bw'omalanga okumulabula omulundi ogusooka era n'ogwokubiri, ng'omuleka, 11 kubanga omanyi nti omuntu ng'oyo aba mukyamu, era mwonoonyi, era aba yeesalidde yekka omusango okumusinga. Ebikomererayo 12 Bwe ndikutumira Aritema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga eyo gye mmaliridde okubeera mu biseera eby'obutiti. 13 Fuba nga bw'osobola okutegekera Zeena munnamateeka ne Apollo olugendo lwabwe, era olabe nti balina buli kimu kye beetaaga. 14 Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa. 15 Bonna abali nange bakulamusizza. Lamusa abatwagala, bwe tulina okukkiriza okumu. Katonda akukwatirwenga ekisa. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda