Et 6 - Luganda DC Bible 2003Ekiragiro Ekikulu 1 “Kale gano ge mateeka n'ebiragiro n'ebibuuliriro Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza. Mubituukirizenga mu nsi gye munaatera okuyingiramu okugyefuga, nga musomose Omugga Yorudaani. 2 Mmwe n'abaana bammwe era ne bazzukulu bammwe, mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa obulamu bwammwe bwonna. Mutuukirizenga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye, bye mbawa, mulyoke muwangaale nnyo. 3 Kale Abayisirayeli muwulire, mwegendereze okubituukirizanga, mulyoke mubeerenga bulungi, mweyongere nnyo obungi, mubeerenga mu nsi engimu era engagga, nga Mukama Katonda wa bajjajjammwe bwe yabasuubiza mmwe. 4 “Muwulire mmwe Abayisirayeli: Mukama, ye Katonda waffe, Mukama yekka. 5 Mwagalenga Mukama, Katonda wammwe, n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, n'amaanyi gammwe gonna. 6 Bino bye mbalagira olwaleero bibeerenga mu mitima gwammwe. 7 Mujjukirenga okubiyigiriza abaana bammwe, mubyogerengako nga muli awaka, era nga mutambula mu ŋŋendo, nga mugalamiddeko, era nga mugolokose. 8 Mubisibenga ku mikono gyamwe, era mubyetimbenga mu byenyi byammwe ng'akabonero akabibajjukiza. 9 Mubiwandiikenga ku myango ne ku nzigi z'ennyumba zammwe. Okulabula Abayisirayeli baleme kujeema 10 “Mukama Katonda wammwe bw'alibatuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, alibawa mmwe ebibuga ebinene era ebirungi bye mutaazimba, 11 n'amayumba agajjudde ebirungi bye mutaateekamu. Alibawa enzizi ensime, ze mutaasima, n'ennimiro z'emizabbibu n'ez'emizayiti, gye mutaasimba. Mulirya ne mukkuta. 12 Kale mwegendereze muleme kwerabira Mukama eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu. 13 Mussengamu ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, mumusinzenga, era erinnya lye, lye muba mulayiranga. 14 Temuusinzenga lubaale n'omu ku balubaale b'abantu ababeetoolodde. 15 Bwe mulisinza balubaale, obusungu bwa Mukama bulibatumbukirako mmwe ng'omuliro, ne bubasaanyaawo, kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ali nammwe, wa buggya, tavuganyizibwa. 16 “Temuukemenga Mukama Katonda wammwe nga bwe mwamukema e Masa. 17 Munyiikirenga okukuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, n'ebyo bye yabakuutira, n'amateeka ge, ge yabateekera. 18 Mukolenga ebyo Mukama by'ayita ebituufu era ebirungi, lwe mulibeera obulungi, ne muyingira era ne mwefuga ensi ennungi, Mukama gye yalayirira bajjajjammwe, 19 abalabe bammwe bonna be musanzeemu ne mubagobamu, nga Mukama bwe yasuubiza. 20 “Gye bujja, abaana bammwe balibabuuza mmwe nti: ‘Amateeka n'ebiragiro n'ebibuuliriro Mukama Katonda waffe bye yabateerawo, bitegeeza ki?’ 21 Abaana bammwe abo bamubaddangamu nti: ‘Twali baddu ba kabaka w'e Misiri, Mukama n'atuggya mu Misiri ng'akozesa obuyinza bwe obw'amaanyi. 22 Twerabirako n'amaaso gaffe ebyewuunyo n'ebyamagero eby'amaanyi era eby'entiisa Mukama bye yakola ku Misiri ne ku kabaka waayo, ne ku b'ennyumba ya kabaka oyo bonna. 23 Ffe n'atuggyayo, n'atuleeta wano, n'atuwa ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe. 24 Mukama Katonda waffe n'atulagira okutuukirizanga amateeka ago gonna, n'okumussangamu ekitiibwa, tulyoke tubeerenga bulungi bulijjo, era atukuumenga nga tuli balamu nga bwe tuli kaakano. 25 Kye tusaanidde okukola, kwe kwegendereza tutuukirizenga byonna Mukama Katonda waffe bye yatulagira.’ |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda