Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Et 4 - Luganda DC Bible 2003


Musa akuutira Abayisirayeli okuba abawulize

1 “Kale kaakano mmwe Abayisirayeli muwulire amateeka n'ebiragiro bye mbayigiriza okutuukirizanga, mulyoke mube balamu, era muyingire mu nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gy'abawa, mugyefuge.

2 Temuuyongerenga ku kye mbalagira era temuukikendeezengako. Mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbawa.

3 Mmwe mwennyini mwalaba Mukama Katonda wammwe bye yakolera e Pewori, ebikwata ku Baali. Yazikiriza bonna mu mmwe abaasinzizaayo Baali.

4 Naye mmwe abaanywerera ku Mukama Katonda wammwe, mukyali balamu ne leero.

5 “Nzuuno mbayigiriza amateeka n'ebiragiro nga Mukama Katonda wange bwe yandagira. Mubikwatenga nga muli mu nsi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga.

6 Mubikuumenga era mubituukirizenga, kubanga ekyo kye kinaalaganga abantu ab'amawanga amalala, bwe mulina amagezi n'okutegeera. Bwe banaawuliranga amateeka ago gonna, banaagambanga nti: ‘Ddala eggwanga lino ekkulu, lya bantu abagezi era abategeevu.’

7 “Kale ggwanga ki eddala ekkulu, eririna Katonda aliri okumpi bw'atyo, nga Mukama Katonda waffe bw'ali okumpi bwe tumukoowoola?

8 Era ggwanga ki eddala ekkulu eririna amateeka n'ebiragiro eby'obwenkanya ng'amateeka gano gonna ge mbateerawo olwaleero?

9 Wabula mwegendereze era mwekuume, muleme kwerabira mu bulamu bwammwe bwonna ebyo mmwe mwennyini bye mwalaba. Mutegeeze abaana bammwe ne bazzukulu bammwe

10 olunaku lwe mwayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ku lusozi Horebu, lwe yaŋŋamba nti: ‘Nkuŋŋaanyiza abantu. Njagala bawulire bye mbagamba, bayige okuntyanga ennaku zonna ez'obulamu bwabwe ku nsi, era ekyo bakiyigirizenga n'abaana baabwe.’

11 “Mutegeezanga abaana bammwe nga bwe mwasembera ne muyimirira wansi w'olusozi olwali lubikkiddwa ebire ebikwafu, eby'omukka omuddugavu, ne lwaka omuliro, ne gutumbiira mu ggulu.

12 Mubategeezenga nga Mukama bwe yayogera nammwe ng'asinziira mu muliro, ne muwulira ddoboozi lyokka ng'ayogera, kyokka ne mutalaba nga bw'afaanana n'akatono.

13 Yabategeeza endagaano ye, gye yabalagira okutuukiriza, bye biragiro ekkumi, n'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja.

14 Mukama n'andagira mu biseera ebyo okubayigiriza amateeka n'ebiragiro, mubituukirizenga mu nsi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga.


Abayisirayeli balabulwa balemenga kusinza ebitali Katonda

15 “Kale mwegendereze nnyo. Nga bwe mutaalaba Mukama bw'afaanana ku lunaku lwe yayogera nammwe ku Lusozi Horebu ng'asinziira mu muliro wakati,

16 mwekuume muleme kwonoona nga mwekolera ekifaananyi ekyole eky'engeri yonna ey'ekintu ekisajja oba ekikazi,

17 eky'ensolo yonna ku nsi, eky'ekinyonyi eky'ebiwaawaatiro ekibuuka mu bbanga

18 oba eky'ekintu kyonna ekyewalula ku ttaka, wadde eky'ekyennyanja ekibeera wansi mu mazzi.

19 “Era mulemenga kukemebwa ne musinza era ne muweereza bye mulaba ku ggulu: enjuba, n'omwezi n'emmunyeenye. Ebyo byonna eby'oku ggulu, Mukama Katonda wammwe yabiteerawo abantu bonna abali ku nsi.

20 Naye mmwe Mukama yabakwatako, n'abaggya mu kabiga ak'ekyuma, ye Misiri, abafuulire ddala abantu be nga bwe muli kaakano.

21 Era Mukama yansunguwalira ku lwammwe, n'alayira nti nze sirisomoka Mugga Yorudaani era siriyingira mu nsi eyo ennungi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa mmwe okuba obutaka bwammwe.

22 Nze nja kufiira mu nsi eno. Siri wa kusomoka Mugga Yorudaani. Naye mmwe mujja kusomoka, mwefuge ensi eyo ennungi.

23 Mwekuume, mulemenga okwerabira endagaano Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe, ne mwekolera ekifaananyi eky'engeri yonna, Mukama Katonda wammwe kye yabagaana,

24 kubanga Mukama Katonda wammwe ali ng'omuliro ogwaka, tavuganyizibwa.

25 “Ne bwe muliba nga mumaze ebbanga ggwanvu mu nsi eyo, nga muzadde abaana, era nga mulina n'abazzukulu, temugezanga ne mwonoona nga mwekolera ekifaananyi eky'engeri yonna. Ekyo kibi mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era kirimusunguwaza.

26 Nkoowoola eggulu n'ensi okubalumiriza olwaleero nti mulizikirira mangu ne muggweerawo ddala mu nsi gye munaatera okuyingiramu okwefuga, nga musomose Omugga Yorudaani. Temuligibeeramu bbanga ggwanvu, naye mulizikirira ne muggweerawo ddala.

27 Mukama alibasaasaanya mu mawanga amalala, abatono ku mmwe gye balisigala nga balamu.

28 Eyo gye muliweerereza balubaale abakolebwa abantu mu miti ne mu mayinja, balubaale abatalaba wadde okuwulira, era abatalya wadde okuwunyiriza.

29 Naye nga muli eyo, munaanoonyanga Mukama Katonda wammwe. Era bwe munaamunoonyanga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, munaamuzuulanga.

30 Bwe munaabeeranga mu buyinike, era ng'ebyo byonna bibajjidde, ku nkomerero munaakomangawo eri Mukama Katonda wammwe, ne mugondera by'abagamba,

31 kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa. Taabaabulirenga wadde okubazikiriza, era teyeerabirenga ndagaano gye yakola ne bajjajjammwe.

32 “Kale mwetegereze ebyaliwo mu mirembe egy'edda, okuviira ddala emabega, Katonda bukya atonda bantu ku nsi. Mwetegereze ensi yonna. Ekintu ekikulu nga kino kyali kibaddewo, era waliwo eyali akiwuliddeko?

33 Waliwo abantu abaali bawulidde Katonda ng'ayogera, ng'asinziira mu muliro, nga mmwe bwe mwawulira, ne basigala nga balamu?

34 Oba waliwo lubaale eyali agezezzaako okugenda okwetwalira abantu b'eggwanga erimu ng'abaggya wakati mu ggwanga eddala, ng'akozesa ebigezo, n'ebyewuunyo n'ebyamagero, n'olutalo, n'obuyinza obungi n'amaanyi, n'eby'entiisa ennene, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakolera mmwe e Misiri nga mulaba?

35 Ebyo Mukama yabibalaga mmwe, mulyoke mumanye nti Ye, ye Katonda yekka, tewali mulala.

36 Mmwe yabawuliza eddoboozi lye ng'asinziira mu ggulu, alyoke abayigirize. Ne ku nsi yabalaga omuliro gwe ogw'amaanyi, ne muwulira bye yayogerera wakati mu gwo.

37 Olw'okwagala bajjajjammwe, yabalondamu mmwe bazzukulu baabwe, era mu buyinza bwe obungi, Ye yennyini n'abaggya mu Misiri.

38 Era bwe mwali nga munaatera okutuuka, ab'amawanga agasinga eryammwe obukulu n'amaanyi, yabagoba mu nsi yaabwe, ayingizeemu mmwe, era agibawe okuba obutaka bwammwe, nga bw'eri kaakano.

39 Kale mumanye olwaleero era mukikuume mu mitima gyammwe, nga Mukama ye Katonda mu ggulu ne mu nsi. Tewali mulala.

40 Mukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'abaana bammwe abaliddawo, era muwangaalire mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa ebe yammwe ennaku zonna.”


Ebibuga ebisatu eby'obuddukiro ebuvanjuba bwa Yorudaani

41 Awo Musa n'ayawula ebibuga bisatu ebuvanjuba bwa Yorudaani,

42 omuntu mw'ayinza okuddukira n'awona, bw'aba ng'asse munne mu butanwa, ng'abadde tamulinaako bulabe; nga bw'addukira mu kimu ku bibuga ebyo, awonya obulamu bwe.

43 Waaliwo Bezeri eky'omu lusenyi mu ddungu, ku lw'ab'omu Kika kya Rewubeeni. Waaliwo Ramoti mu Gileyaadi ku lw'ab'omu Kika kya Gaadi. Waaliwo ne Golani mu Basani, ku lw'ab'omu Kika kya Manasse.


Ekifo n'ekiseera Musa mwe yaweera Abayisirayeli Amateeka ga Katonda

44 Gano ge mateeka, Musa ge yateerawo Abayisirayeli.

45 Bino bye bibuuliriro n'amateeka n'ebiragiro, Musa bye yategeeza Abayisirayeli bwe baava mu Misiri.

46 Yabibaweera mu kiwonvu ekitunuulidde Beti Pewori, ebuvanjuba bwa Yorudaani, mu nsi eyali eya Sihoni, kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Hesubooni, Musa n'Abayisirayeli gwe baawangula nga bavudde mu Misiri.

47 Beefuga ensi ye, n'ensi ya Ogi kabaka w'e Basani kabaka omulala ow'Abaamori, era eyabeeranga ebuvanjuba bwa Yorudaani.

48 Ekitundu kino, kiva ku Kibuga Aroweri, ekiri ku mabbali ku njegoyego z'Ekiwonvu Arunoni, okutuuka ku Lusozi Siyooni, olwo ye Herumooni.

49 Era kitwaliramu ekitundu kyonna eky'ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani, okutuuka ku Nnyanja y'Omunnyo, wansi w'obutunnumba bw'Olusozi Pisuga.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies