Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Et 19 - Luganda DC Bible 2003


Ebibuga eby'obuddukiro
(Laba ne Kubal 35:9-34 ; Yos 20:1-9 )

1 “Mukama Katonda wammwe bw'alimala okuzikiriza ab'amawanga amalala, kaakati abali mu nsi mmwe gy'abawa, ne mudda mu kifo kyabwe, ne mubeera mu bibuga byabwe, ne mu mayumba gaabwe,

2 mulyeronderamu ebibuga bisatu mu nsi yammwe, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okwefuga.

3 Mulyerongooseza enguudo era ne musala mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba eyammwe, n'ebaamu ebitundu bisatu, buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde asobolenga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo ebisatu.

4 Omussi anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'awonya obulamu bwe, ye oyo anaabanga asse omuntu mu butali bugenderevu, era nga gw'asse tabadde mulabe we.

5 Okugeza, singa omuntu ayingira ne munne mu kibira okutema omuti, n'agalula embazzi okugutema, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'ekuba munne n'emutta, oyo asse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'awonya obulamu bwe.

6 Singa ekibuga kibeera ekimu, olugendo lwandisobodde okuba oluwanvu ennyo okukituukamu, oyo awoolera eggwanga ng'akyalina obusungu olw'omuntu eyattibwa, n'awondera eyatta, n'amutuukako, n'amutta, sso nga teyandisaliddwa gwa kufa kubanga gwe yatta teyali mulabe we.

7 Kyenva mbalagira mweronderemu ebibuga bisatu.

8 “Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo z'ensi yammwe nga bwe yalayirira bajjajjammwe, n'abawa mmwe ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajjammwe,

9 ne mukuumanga ebiragiro bino byonna bye mbawa olwaleero, nti mwagalenga Mukama Katonda wammwe era bulijjo mukolenga by'ayagala, olwo ku bibuga bino ebisatu, mulyongerako ebibuga ebirala bisatu.

10 Mulikola bwe mutyo, sikulwa ng'abantu abataliiko musango battibwa mu nsi yammwe Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe, ne muba n'omusango.

11 “Naye omuntu bw'anaakyawanga munne, n'amuteega, n'amufubutukira, n'amukuba n'amutta, n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo,

12 abakulembeze b'ekibuga ky'ewaabwe banaatumanga abantu ne bamuggyayo, n'aweebwayo mu mikono gy'omuntu ateekwa okuwoolera eggwanga olw'oyo eyatemulwa, attibwe.

13 Temuumukwatirwanga kisa, naye muggyangawo omutemu oyo mu Yisirayeli, byonna lwe biribagendera obulungi.


Ensalo ez'edda

14 “Mu butaka bwe mugenda okufuna mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa mugyefuge, temuukuulenga mpaanyi za nsalo za bibanja bya baliraanwa bammwe, ezinaabanga zimaze okusimbibwa ab'edda.


Ebikwata ku bajulirwa

15 “Omujulizi omu yekka taasingisenga muntu musango olw'ekibi oba olw'ekintu kyonna omuntu ky'anaabanga asobezza. Ensonga eneekakasibwanga lwa bujulizi bwa bantu babiri oba basatu. 1 Tim 5:19; Beb 10:28

16 Omuntu omubi bw'anaawaayirizanga munne okumusingisa omusango,

17 bombi abatakkaanya banaagendanga mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, ne balamulwa bakabona n'abalamuzi abanaabeerangawo mu kiseera ekyo.

18 Abalamuzi banaabuulirizanga n'obwegendereza. Bwe banaazuulanga ng'omujulizi mulimba, era ng'awaayirizza munne,

19 munaamuwanga ekibonerezo ky'abadde ayagaliza munne. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo.

20 Awo abantu abalala banaawuliranga ne batya, ne bataddamu kukola kibi ng'ekyo mu mmwe.

21 Ekintu ng'ekyo temuukikwatirwenga kisa. Ekibonerezo kinaabanga bulamu kusasulwa bulamu, liiso kusasulwa liiso, linnyo kusasulwa linnyo, n'ekigere kusasulwa kigere.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies