Et 15 - Luganda DC Bible 2003Omwaka ogw'omusanvu (Laba ne Leev 25:1-17 ) 1 “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, munaasonyiwanga abantu amabanja. 2 Eno ye ngeri gye munaakikolangamu: buli anaabanga alina munne gw'abanja, anaamusonyiwanga kye yamuwola. Taakibanjenga munne oyo era muganda we, kubanga Mukama yennyini ye anaabanga alangiridde ekisonyiwo. 3 Abagwira munaayinzanga okubabanja, naye buli kintu kyammwe ekiri mu baganda bammwe, munaakibalekeranga. 4 “Tewaabenga mwavu mu mmwe, kubanga Mukama Katonda wammwe taalemenga kubawa mukisa mu nsi gy'abawa okwefuga, ebe obutaka bwammwe, 5 kasita munaanyiikiranga okuwulira, ne mutuukirizanga ebiragiro bye bino byonna bye mbawa olwaleero. 6 Ddala Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa nga bwe yabasuubiza. Munaawolanga amawanga mangi, naye mmwe, temwewolenga. Munaafuganga amawanga mangi, naye mmwe, tegaabafugenga. 7 “Mu mmwe bwe munaabangamu omwavu mu kimu ku bibuga byammwe mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, temuukakanyazenga mitima gyamwe, ne mugaana okuyamba muganda wammwe oyo omwavu, 8 wabula mumukwatirwanga ekisa, ne mumuwola byonna by'anaabanga yeetaaga. 9 Temuugaanenga kumuwola nga mwekwasa nti omwaka ogw'omusanvu ogw'okusonyiyiramu amabanja gunaatera okutuuka. Temukkirizenga ndowooza eyo embi kuyingira mu mitima gyammwe. Bwe munaagaananga okumuwola, n'amala akoowoola Mukama ng'abawawaabira, munaavuunaanibwanga ekibi ekyo. 10 Temulemanga kumuweesa kwagala, nga n'omutima gwammwe teguliimu kwennyamira. Olwo Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga. 11 Abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna. Kyenva mbalagira mmwe nti temulemanga kuyamba baganda bammwe abali mu bwetaavu, era abaavu mu nsi yammwe. Engeri y'okuyisangamu abaddu (Laba ne Kuv 21:1-11 ) 12 “Bwe bakuguzanga Omwebureeyi munno, omusajja oba omukazi, n'akuweereza okumala emyaka mukaaga, mu mwaka ogw'omusanvu omuteeranga ddala n'agenda. 13 Era ng'omuteera ddala okugenda, tomulekanga kugenda nga talina kantu. 14 Omuwanga n'omutima omugabi, ng'otoola ku ndiga n'embuzi, ku mmere ey'empeke ne ku mwenge ogw'emizabbibu, okusinziira ku ebyo Mukama Katonda wo bye yakuweeramu omukisa. 15 Mujjukire nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wammwe n'abanunula, kyenva mbawa ekiragiro ekyo kaakano. 16 “Naye omuddu wo ayinza obutayagala kukuvaako, kubanga akwagala ggwe n'ab'omu maka go, era nga mumativu okusigala naawe. 17 Olwo onookwatanga olukato, n'omuwummula okutu kwe ng'ali ku luggi, n'abeerera ddala muddu wo ennaku zonna. N'omuzaana wo bw'onoomuyisanga bw'otyo. 18 Leka kulowooza nti kizibu okumuteera ddala n'akuvaako, kubanga anaabanga akukoledde emyaka mukaaga, emirimu gya mirundi ebiri egy'omukozi akolera empeera. Bw'onookolanga bw'otyo, Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'onookolanga. Ensolo ezisooka okuzaalibwa 19 “Ente zammwe, embuzi n'endiga zammwe ezisooka okuzaalibwa, munaazaawuliranga Mukama Katonda wammwe. Ente ezo ezisooka okuzaalibwa temuuzikozesenga mirimu, era embuzi n'endiga ezo ezisooka okuzaalibwa, temuuzisalengako byoya. 20 Buli mwaka mmwe n'ab'omu maka gammwe, munaaziriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mu kifo ekyo Mukama ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu. 21 Naye ezinaabeerangako akamogo, nga nnema oba nga zizibye amaaso, oba nga ziriko ekikyamu ekirala kyonna, temuuziwengayo eri Mukama Katonda wammwe. 22 Munaaziriiranga mu bibuga byammwe. Abalongoofu n'abatali balongoofu banaayinzanga okuziryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza. 23 Naye temuulyenga musaayi gwazo. Munaaguyiwanga ku ttaka ng'amazzi. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda