Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Engero 1 - Luganda DC Bible 2003


Omugaso gw'engero

1 Zino ze ngero za Solomooni mutabani wa Dawudi, era kabaka wa Yisirayeli.

2 Ziyamba abantu okufuna amagezi n'okuyigirizibwa, n'okutegeera ebigambo eby'amakulu amakusike.

3 Ziyigiriza amagezi ag'okukola ebituufu, n'okusala ensonga mu bwenkanya, n'okuba abeesimbu.

4 Ziyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu, ziwa abavubuka okumanya n'okutegeera.

5 Omugezi bw'aziwulira, yeeyongera okuyiga, era zibuulirira abategeevu,

6 ne beeyongera okutegeera amakulu g'engero agoomunda, n'ebigambo ebyogerwa abakugu.


Okubuulirira abavubuka

7 Mu kutya Mukama, okumanya mwe kusookera. naye abasiru banyooma amagezi, era tebaagala kuyiga.

8 Mwana wange, wulira kitaawo by'akuyigiriza, era tova ku ebyo nnyoko by'akukuutira.

9 Birungiya empisa zo, ng'ekiremba ky'oku mutwe n'emikuufu gy'omu bulago, bwe biwoomera abirina.

10 Ababi bwe bakusendasendanga, mwana wange, tokkirizanga.

11 Singa bagamba nti: “Jjangu tuyite ffenna, tuteegeyo gwe tunatta, tugwikirize abataliiko musango, tubalumbe awatali nsonga,

12 tubafuukire amagombe tubamire, basaanewo ng'abakka mu bunnya.

13 Tuneezuulira ebintu eby'omuwendo ennyo, tujjuze amayumba gaffe omunyago.

14 Jjangu otwegatteko naawe, tugabanire wamu ebibbe.”

15 Mwana wange togezanga n'oyita nabo, era tobeesemberezanga,

16 kubanga tewaliyita bbanga nga tebannakola bya mbyone. Tebalirwa kuyiwa musaayi.

17 Ekitimba otegera bwereere, ng'ennyonyi gy'otega ekulaba.

18 Naye abantu ng'abo, bateega bulamu bwabwe bwennyini, era be bafiira mu nkwe zaabwe.

19 Bwe kityo bwe kiba ku buli afuna eby'obunyazi: ababifuna, biribatta.


Amagezi gakoowoola abantu

20 Amagezi galeekaanira mu nguudo, gakoowoolera mu bifo ebyalukale.

21 Googera n'eddoboozi ery'omwanguka awayingirirwa mu kibuga, n'abangi we bakuŋŋaanira. Ne gagamba nti:

22 “Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagala obutamanya? Nammwe abanyoomi mulituusa wa okusanyukira obunyoomi? Era nammwe abasiru mulituusa wa okukyawa okumanya?

23 Musseeyo omwoyo ku bye mbanenya. Era nja kubabuulirira, mbamanyise ekindi ku mwoyo, mbagabanyize ku bye mmanyi.

24 Mbayise ne mugaana okujja. Mbawenyezzaako n'omukono, ne wataba afaayo.

25 Temuwulirizza bye mbabuulirira, temwagadde mbanenye n'akatono.

26 Kale nange bwe mulikaaba, ndiseka; ndikudaala nga muli mu ntiisa.

27 Entiisa bw'eribajjira ng'omuyaga, akabi ne kabeetooloola ng'embuyaga ey'akazimu, obuyinike n'obulumi ne bibagwira,

28 olwo mulimpanjagira, naye siribaddamu; mulinnoonya, naye temulinzuula,

29 kubanga mwakyawanga okumanya, era temwalondawo kutya Mukama.

30 Temwayagalanga mbabuulirire n'akatono, temwakkirizanga mbanenyeeko n'akamu.

31 Kyemuliva mufuna empeera egwanira bye mwakola, mulyoke mwetamwe enkwe zammwe,

32 kubanga ekitta ababuyabuya, kuva ku bituufu; n'ekizikiriza abasiru, buteefiirayo.

33 Naye buli awuliriza bye ŋŋamba, anaabanga mirembe, era anaatereeranga nga tewali kabi k'atya.”

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies