Abalam 12 - Luganda DC Bible 2003Yefuta n'Abeefurayimu 1 Abeefurayimu ne bategeka olutalo, ne basomoka Omugga Yorudaani, ne bajja e Zafoni, ne bagamba Yefuta nti: “Lwaki wasala ensalo n'ogenda okulwanyisa Abammoni, n'ototuyita kugenda naawe? Tujja kukwokera mu nnyumba yo!” 2 Yefuta n'abagamba nti: “Nze n'abantu bange twalina enkaayana ey'amaanyi n'Abammoni. Nabayita mmwe, naye ne mutajja kubamponya. 3 Bwe nalaba nga temunziruukiridde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nsala ensalo okulwanyisa Abammoni, Mukama n'ampa okubawangula. Kale lwaki mujja gye ndi okunnwanyisa?” 4 Awo Yefuta n'akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gileyaadi, n'alwanyisa Abefurayimu n'abagoba. Abeefurayimu baali bagamba nti: “Mmwe Abagileyaadi mu Efurayimu ne mu Manasse, mwadduka ku Efurayimu.” 5 Abagileyaadi okuziyiza Abeefurayimu okutoloka, beekwata ebifo byonna, Omugga Yorudaani we guyinza okusomokerwa. Buli Mwefurayimu eyajjanga n'asaba bamukkirize okusomoka, nga bamubuuza nti: “Oli Mwefurayimu?” Bwe yaddangamu nti: “Nedda”, 6 ne bamugamba ayogere nti: “Shibboleti,” n'ayogera nti: “Sibboleti,” kubanga teyayinzanga kukyatula bulungi, nga bamukwata, nga bamuttira ku emu ku nsomoko za Yorudaani. Mu biro ebyo, Abeefurayimu emitwalo ena mu enkumi bbiri ne battibwa. 7 Yefuta n'akulembera Yisirayeli okumala emyaka mukaaga, n'afa, ne bamuziika mu kimu ku bibuga by'omu Gileyaadi. Yibuzaani (Omulamuzi ow'ekkumi) 8 Yefuta bwe yavaawo, Yibuzaani ow'e Betilehemu n'akulembera Yisirayeli. 9 Yalina batabani be amakumi asatu, ne bawala be amakumi asatu. N'afumbiza bawala be abo mu bika ebirala. N'aggya abawala amakumi asatu mu bika ebirala, n'abawasiza batabani be. N'akulembera Yisirayeli okumala emyaka musanvu, 10 n'afa, ne bamuziika mu Betilehemu. Eloni (Omulamuzi ow'ekkumi n'omu) 11 Yibuzaani bwe yavaawo, Eloni Omuzebbulooni n'akulembera Yisirayeli okumala emyaka kkumi, 12 n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni. Abudooni (Omulamuzi ow'ekkumi n'ababiri) 13 Eloni bwe yavaawo, Abudooni mutabani wa Hilleli Omupiratoni n'akulembera Yisirayeli. 14 Yalina batabani be amakumi ana, ne bazzukulu be amakumi asatu, abeebagalanga ku ndogoyi nsanvu. Abudooni yakulembera Yisirayeli okumala emyaka munaana, 15 n'afa, ne bamuziika mu Piratoni, mu nsi ya Efurayimu, mu kitundu ky'Abamaleki eky'ensozi. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda