Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Abaebbulaniya 1 - Luganda DC Bible 2003


Katonda ayogerera mu Mwana we

1 Edda Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe emirundi mingi era mu ngeri nnyingi, ng'ayita mu balanzi.

2 Naye mu biseera bino eby'oluvannyuma, ayogedde naffe ng'ayita mu Mwana we, gwe yateekawo okuweebwa byonna, era gwe yayitamu okutonda ebintu byonna.

3 Mu ye ekitiibwa kya Katonda mwe kirabikira, era mu ye mwe tulabira ddala Katonda nga bw'afaanana. Era ye awanirira ebintu byonna n'amaanyi g'ekigambo kye. Bwe yamala okusobozesa ebibi by'abantu okusonyiyibwa, n'atuula mu ggulu ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza.


Omwana asinga bamalayika ekitiibwa

4 Omwana yaweebwa ekitiibwa ekisinga ekya bamalayika, nga bwe yaweebwa erinnya erisinga agaabwe.

5 Kubanga ani ku bamalayika, Katonda gwe yali agambye nti: “Oli Mwana wange, olwaleero nkuzadde”? Oba nti: “Ndiba Kitaawe, naye n'aba Mwana wange”?

6 Era ate Katonda bwe yali ng'ali kumpi okutuma mu nsi Omwana we omuggulanda, yagamba nti: “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”

7 Bw'ayogera ku bamalayika agamba nti: “Katonda afuula bamalayika be ng'empewo, n'abaweereza be abafuula ennimi ng'ez'omuliro.”

8 Kyokka bw'ayogera ku Mwana, agamba nti: “Entebe yo ey'obwakabaka, ayi Katonda, ebeerawo emirembe n'emirembe. N'obwakabaka bwo obufugisa bwenkanya.

9 Oyagala abantu bakole ebituufu, n'okyawa abantu okukola ebikyamu. Katonda, Katonda wo, kyeyava akufukako omuzigo okukuwa ekitiibwa, n'osanyuka okusinga banno.”

10 Era agamba nti: “Ggwe, Mukama, mu kusooka watonda ensi, n'eggulu ggwe walikola wennyini.

11 Byo biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ng'ekyambalo.

12 Olibizingako ng'omunagiro, era birikyusibwa ng'ekyambalo. Naye ggwe tokyukako, n'obulamu bwo tebulikoma.”

13 Kale ani ku bamalayika, Katonda gwe yali agambye nti: “Tuula ku ludda lwange olwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo, ekirinnyibwako ebigere byo”?

14 Kale bamalayika bonna, si gye myoyo egiweereza Katonda, gy'atuma okuyamba abo ab'okulokolebwa?

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies