Zabbuli 1 - Luganda Bible 2003EKITABO EKIBEREBERYE (Zabbuli 1–41 ) Essanyu ery'amazima 1 Wa mukisa oyo atakolera ku magezi ga babi oba okukwata ekkubo ly'aboonoonyi, wadde okutuula awamu n'abanyoomi. 2 Wabula amateeka ga Katonda ge gamusanyusa, era g'alowoozaako emisana n'ekiro. 3 Afaanaanyirizibwa n'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo z'amazzi, ogubala ebibala mu kiseera kyabyo, era ogutawotoka makoola. Mu buli ky'akola aba wa mukisa. 4 Naye ababi si bwe bali. Bafaanaanyirizibwa n'ebisusunku ebifuumuulibwa embuyaga. 5 Ababi abo kyebaliva balemwa okugumira olunaku olw'okusalirwako omusango, wadde okwetaba awamu n'abatuukirivu. 6 Kubanga Mukama aluŋŋamya abatuukirivu. Naye ababi balizikirira. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda