Yobu 1 - Luganda Bible 2003Obugagga bwa Yobu 1 Waaliwo omusajja mu nsi ya Wuzzi, erinnya lye Yobu. Omusajja oyo yali muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, assaamu Katonda ekitiibwa, era nga yeewala okukola ebibi. 2 Yalina abaana ab'obulenzi musanvu, n'ab'obuwala basatu. 3 Yalina endiga kasanvu, eŋŋamiya enkumi ssatu, n'emigogo gy'ente ezirima ebikumi bitaano, n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano, n'abaweereza bangi nnyo ddala. Omusajja oyo ye yali asinga obugagga mu bantu b'ebuvanjuba bonna. 4 Batabani be baagendanga ne bafumba embaga mu nnyumba ya buli omu ku bo mu mpalo, ne batumya bannyinaabwe abasatu, ne babayita okulya n'okunywa nabo. 5 Ennaku ez'embaga zaabwe bwe zaggwangako, Yobu yabatumyanga n'abatukuza. Yagolokokanga mu makya, n'aweerayo buli omu ku bo ekiweebwayo ekyokebwa, kubanga yagambanga nti: “Oboolyawo abaana bange baliko ebibi bye baakoze, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe.” Bw'atyo Yobu bwe yakolanga bulijjo. Sitaani asaba Katonda okugeza Yobu 6 Awo olunaku lwali lumu, bannaggulu ne bajja okweyanjula mu maaso ga Mukama. Ne Sitaani naye n'ajjira mu bo. 7 Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n'addamu Mukama nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n'okugitambulatambulamu.” 8 Mukama n'abuuza Sitaani nti: “Olabye omuweereza wange Yobu? Tewali amwenkana ku nsi. Omusajja oyo ye muntu ataliiko ky'avunaanibwa, era omwesimbu, anzisaamu ekitiibwa, ne yeewala okukola ebibi.” 9 Awo Sitaani n'addamu Mukama nti: “Yobu akussizaamu bwereere ekitiibwa? 10 Omukoledde olukomera okumwetooloola, ye n'amaka ge, n'ebibye byonna by'alina. By'akola obiwadde omukisa, n'obugagga bwe bweyongedde obungi mu nsi. 11 Naye kaakano golola omukono gwo omuggyeko byonna by'alina, ajja kukwegaana ng'olaba.” 12 Mukama n'agamba Sitaani nti: “Kale byonna by'alina, biri mu buyinza bwo. Kyokka ye tomukolako kabi.” Awo Sitaani n'ava mu maaso ga Mukama. Yobu afiirwa abaana be n'ebintu bye 13 Awo olunaku lwali lumu, batabani ba Yobu ne bawala be, bwe baali nga baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, 14 omubaka n'ajja eri Yobu n'agamba nti: “Ente bwe zibadde nga zirima, nga n'endogoyi ziziriraanye, zirya, 15 Abasabeya ne bazizinda, ne bazinyaga. Ne bakozesa ebitala, ne batta abaweereza bo. Era nze nzekka, nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” 16 Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja, n'agamba nti: “Omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, ne gwokya endiga n'ababadde bazirunda, ne gubazikiriza. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” 17 Yali ng'akyayogera, omulala n'agamba nti: “Abakaludaaya, nga beegabanyizzaamu ebibinja bisatu, bazinze eŋŋamiya, ne bazinyaga. Ne bakozesa ebitala, ne batta abaweereza bo. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” 18 Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja n'agamba nti: “Batabani bo ne bawala bo babadde baliira emmere era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu, 19 omuyaga ogw'amaanyi ne guva mu ddungu, ne gukuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'ebagwako, era bafudde. Era nze nzekka nze mponyeewo, ne nzija okukubuulira.” 20 Awo Yobu n'asituka, n'ayuza ekyambalo kye olw'okunakuwala, n'amwa omutwe gwe, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Katonda. 21 N'agamba nti: “Mu lubuto lwa mmange navaamu ndi mwereere, era ndifa ndi mwereere. Mukama ye yampa ebyo, era Mukama ye aggyeewo. Kale Mukama yeebazibwe.” 22 Mu ebyo byonna ebyagwawo, Yobu teyayonoona, wadde okunenya Katonda. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda