Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Yeremiya 1 - Luganda Bible 2003

1 Bino bye bigambo ebyayogerwa Yeremiya, mutabani wa Hilukiya, omu ku bakabona b'e Anatooti, mu nsi ya Benyamiini.

2 Mukama yayogera ne Yeremiya, mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu nga Yosiya mutabani wa Ammoni ye kabaka wa Buyudaaya.

3 Era yayogera naye nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka. N'oluvannyuma Mukama yayogera naye emirundi mingi, okutuusa mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, ogw'obufuzi bwa Ssekabaka Zeddeekiya mutabani wa Yosiya. Mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogwo, abantu b'omu Yerusaalemu mwe baatwalirwa mu buwaŋŋanguse.


Okuyitibwa kwa Yeremiya

4 Awo Mukama n'aŋŋamba nti:

5 “Nakulonda nga sinnakubumba mu lubuto lwa nnyoko. Era nakutukuza nga tonnazaalibwa, ne nkuteekawo okuba omulanzi eri amawanga.”

6 Awo nze ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama Katonda, simanyi kwogera, ndi mwana muto.”

7 Naye Mukama n'aŋŋamba nti: “Togamba nti oli mwana muto. Naye genda eri abo gye nkutuma, era obategeeze byonna bye nkulagira okwogera.

8 Tobatyanga, kubanga Nze ndi wamu naawe okukuwonya. Nze Mukama, Nze njogedde.”

9 Awo Mukama n'agolola omukono gwe, n'akwata ku mimwa gyange, n'aŋŋamba nti: “Kaakano ntadde ebigambo byange mu kamwa ko.

10 Olwaleero nkuwadde obuyinza ku mawanga ne ku bwakabaka, okukuula n'okumenya, okuzikiriza n'okusuula, okuzimba n'okusimba.”


Okulabikirwa okw'emirundi ebiri

11 Awo Mukama n'ambuuza nti: “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba ettabi ly'omuti gw'ebinyeebwa.”

12 Mukama n'aŋŋamba nti: “Olabye bulungi, kubanga ndabirira ekigambo kyange okukituukiriza.”

13 Mukama n'aŋŋamba omulundi ogwokubiri nti: “Kiki ekirala ky'olaba?” Ne nziramu nti: “Ndaba entamu mu bukiikakkono, eyeesera nga yeewunzikidde eno.”

14 Mukama n'aŋŋamba nti: “Akabi kalifuluma mu bukiikakkono okutuuka ku bantu bonna abali mu ggwanga lino.

15 Ndiyita amawanga gonna ag'omu bwakabaka obw'omu bukiikakkono. Bakabaka baayo balijja ne bateeka entebe zaabwe ku miryango gya Yerusaalemu, n'okwetooloola ebisenge byakyo, n'okwetooloola ebibuga ebirala ebya Buyudaaya.

16 Ndisalira abantu bange omusango okubasinga olw'ebibi byabwe, kubanga bandeseewo ne bootereza balubaale obubaane, era ne basinza ebyo bo bennyini bye baakola.

17 Kale ggwe, situka weesibe ekimyu, obategeeze byonna bye nkulagira okwogera. Baleme kukutiisa, sikulwa nga Nze nkutiisa mu maaso gaabwe.

18 Olwaleero nkufudde ekibuga ekinywevu, empagi ey'ekyuma, era ekisenge eky'ekikomo, okulwanyisa ensi Buyudaaya yonna: bakabaka baayo, abakungu ne bakabona baayo, n'abantu baayo bonna.

19 Balikulwanyisa, naye tebalikuwangula, kubanga Nze ndi wamu naawe. Nze Mukama, Nze njogedde.”

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies