Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Olubereberye 1 - Luganda Bible 2003


Okutondebwa kw'ensi

1 Ku ntandikwa, Katonda yatonda eggulu n'ensi.

2 Ensi yali mu mbeera eyeetabuddetabudde, era nga njereere. Ekizikiza kyali kibuutikidde oguyanja, n'omwoyo gwa Katonda gwali gwetawulira ku mazzi.

3 Awo Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ekitangaala.” Ne wabaawo ekitangaala,

4 Katonda n'alaba ng'ekitangaala kirungi. N'ayawula ekitangaala ku kizikiza.

5 Ekitangaala n'akiyita “Emisana,” ate ekizikiza n'akiyita “Ekiro.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olubereberye.

6 Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebbanga wakati w'amazzi, ligaawulemu.”

7 N'ateekawo ebbanga, n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga, n'agali waggulu waalyo. Ne kiba bwe kityo.

8 Ebbanga n'aliyita “Eggulu.” Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokubiri.

9 Katonda n'agamba nti: “Amazzi agali wansi w'eggulu, gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike.” Ne kiba bwe kityo.

10 Olukalu n'aluyita “Ensi,” ate ekkuŋŋaaniro ly'amazzi, n'aliyita “Ennyanja.” Katonda n'alaba nga birungi.

11 Era n'agamba nti: “Ensi emere ebimera ebya buli ngeri, ebeeremu omuddo ogubala ensigo, n'emiti egy'ebibala ebirimu ensigo, ng'ebika byabyo bwe biri.” Ne kiba bwe kityo.

12 Awo ensi n'emera ebimera ebya buli ngeri: omuddo ogubala ensigo, ng'ebika byagwo bwe biri, ne miti egy'ebibala bwe gityo. Katonda n'alaba nga birungi.

13 Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokusatu.

14 Katonda n'agamba nti: “Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu, byawulenga emisana n'ekiro, era biragenga ebiseera by'obudde, n'ennaku, n'emyaka,

15 byakirenga mu bbanga ery'eggulu, bimulise ensi.” Ne kiba bwe kityo.

16 Awo Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene, ekisinga obunene kifugenga emisana, ate ekitono kifugenga ekiro, era n'akola n'emmunyeenye.

17 Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu, bimulisenga ensi,

18 bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga ekitangaala n'ekizikiza. Katonda n'alaba nga birungi.

19 Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokuna.

20 Katonda n'agamba nti: “Ekkuŋŋaaniro ly'amazzi lijjulemu ebiramu ebyewalula, n'ensi ebeeremu ebiramu ebibuuka mu bbanga.”

21 Katonda n'atonda agasolo aganene ag'omu nnyanja, n'ebitonde byonna ebya buli ngeri ebibeera mu mazzi, n'ebibuuka mu bbanga. Katonda n'alaba nga birungi.

22 N'abiwa omukisa, n'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ennyanja. N'ebibuuka mu bbanga byale mu nsi.”

23 Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olwokutaano.

24 Katonda n'agamba nti: “Ensi esibukemu ebiramu ebya buli ngeri, ensolo ezifugibwa, n'ez'omu ttale, ennene n'entono, n'ebyewalula.” Ne kiba bwe kityo.

25 Katonda n'akola ebyo byonna, era n'alaba nga birungi.

26 Katonda n'agamba nti: “Tukole abantu abali nga ffe, nga batufaanana, bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka mu bbanga, n'ebyewalula ku ttaka, n'ensolo era n'ensi yonna.”

27 Awo Katonda n'atonda abantu abali nga ye, n'abatonda nga bamufaanana. Yabatonda omusajja n'omukazi,

28 n'abawa omukisa, ng'agamba nti: “Muzaale mwale, mujjuze ensi, mugifuge. Mulabirirenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka mu bbanga n'ebiramu byonna ebyetawulira ku nsi.”

29 Katonda n'agamba nti: “Mbawadde ebimera byonna ebiri ku nsi, ebibala ensigo, era n'emiti gyonna egibala, bibeerenga emmere yammwe.

30 Ensolo zonna n'ennyonyi nziwadde omuddo n'amakoola, bibeerenga emmere yaabyo.” Ne kiba bwe kityo.

31 Katonda n'atunula ku buli ky'akoze, n'alaba nga kirungi nnyo. Ne buziba, ne bukya. Olwo lwe lunaku olw'omukaaga.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies