Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Okuva 1 - Luganda Bible 2003


Abayisirayeli babonyaabonyezebwa mu Misiri

1 Gano ge mannya g'abaana ba Yisirayeli, abaayingira mu Misiri awamu naye, n'ab'omu maka gaabwe:

2 Rewubeeni, Simyoni, Leevi ne Yuda;

3 Yissakaari, Zebbulooni, ne Benyamiini;

4 Daani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri.

5 Abantu bonna ab'ezzadde lya Yakobo, baali nsanvu. Yosefu yali yabeera dda mu Misiri.

6 Ekiseera nga kiyiseewo, Yosefu ne baganda be, n'abalala bonna ab'omu mulembe ogwo, ne bafa.

7 Naye abazzukulu ba Yisirayeli ne bazaala, ne beeyongera nnyo obungi, ne baba ba maanyi, ne bajjula mu nsi ey'e Misiri.

8 Awo kabaka omuggya ataamanya Yosefu, n'alya obwakabaka mu Misiri.

9 N'agamba abantu be nti: “Mulabe, Abayisirayeli bangi nnyo, era ba maanyi okutusinga.

10 Kale tubasalire amagezi, baleme kweyongera bungi, era singa wabaawo olutalo, baleme kwegatta na balabe baffe okutulwanyisa n'okutoloka mu nsi.”

11 Kyebaava babateekako abakozesa okubabonyaabonya n'emirimu emikakali, ne bazimbira kabaka ebibuga Pitomu ne Rameseesi, eby'okuterekangamu ebintu.

12 Naye Abamisiri gye baakoma okubonyaabonya Abayisirayeli, n'Abayisirayeli gye baakoma okweyongera obungi n'okubuna mu nsi eyo. Abamisiri ne bakyawa Abayisirayeli,

13 ne babatuntuza nnyo,

14 ne bakalubya obulamu bwabwe nga babakozesa emirimu emikakali egy'okubumba amatoffaali, n'okukolanga mu nnimiro. Ne babakozesa byonna nga tebabasaasira.

15 Kabaka w'e Misiri n'agamba abazaalisa Abeebureeyi, omu erinnya lye Sifura n'omulala Puwa nti:

16 “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abeebureeyi, ne mulaba ng'omwana wa bulenzi, mumuttanga. Naye bw'abanga ow'obuwala, mumulekanga n'aba mulamu.”

17 Naye abazaalisa ne batya Katonda, ne batakola nga kabaka w'e Misiri bwe yabalagira, naye ne baleka abaana ab'obulenzi nga balamu.

18 Kabaka w'e Misiri n'ayita abazaalisa abo, n'abagamba nti: “Lwaki mukola ekyo, ne muleka abaana ab'obulenzi nga balamu?”

19 Abazaalisa ne bagamba kabaka nti: “Abakazi Abeebureeyi tebali nga bakazi Abamisiri, kubanga bo tebakaluubirirwa mu kuzaala: abazaalisa we babatuukirako, nga baamaze dda okuzaala.”

20 Katonda n'awa abazaalisa abo omukisa. Abayisirayeli ne beeyongera obungi, ne baba ba maanyi nnyo.

21 Era kubanga abazaalisa baatya Katonda, Katonda n'abawa amaka.

22 Awo kabaka n'alagira abantu be bonna nti: “Buli mwana Omwebureeyi ow'obulenzi alizaalibwa, mumusuulanga mu mugga, naye buli mwana ow'obuwala mumulekanga n'aba mulamu.”

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies