Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Nekkemiya 1 - Luganda Bible 2003


Nehemiya asabira Abayisirayeli eri Katonda

1 Bino bye bigambo bya Nehemiya, mutabani wa Hakaliya. Mu mwezi gwa Kisuleevu, mu mwaka ogw'amakumi abiri, ogw'obufuzi bwa Kabaka Arutazeruzeesi, nze Nehemiya bwe nali mu kibuga ekikulu Susa,

2 Hanani, omu ku baganda bange, n'ajja n'abantu abalala okuva mu Buyudaaya. Ne mbabuuza ebifa mu Yerusaalemu, ne ku Bayudaaya bannaffe abaddayo okuva mu buwaŋŋanguse.

3 Ne baŋŋamba nti: “Abo abaddayo mu kitundu ekyo nga bava mu buwaŋŋanguse, banakuwavu nnyo, era bawulira okuswala, kubanga ebisenge bya Yerusaalemu bimenyeddwa era n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro.”

4 Bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula ne nkaaba amaziga, ne mmala ennaku eziwerako nga nkungubaga, era nga sirya mmere, era ne nsinza Katonda w'Eggulu.

5 Ne ŋŋamba nti: “Ayi Mukama, Katonda w'Eggulu, oli mukulu era oli wa ntiisa! Okuuma endagaano yo, era oba n'okwagala okutakoma eri abo abakwagala, era abakola by'olagira.

6 Tunula era otege okutu owulire essaala yange, nze omuweereza wo, nga nkwegayirira emisana n'ekiro olw'abantu bo Abayisirayeli. Njatula nti ffe Abayisirayeli twayonoona.

7 Twakukolera ebitatuuse, tetwakwata bye walagira, wadde amateeka ge watuwa ng'ogayisa mu muweereza wo Musa.

8 Jjukira kye walagira omuweereza wo Musa nti: ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, nnaabasaasaanyizanga mu mawanga.

9 Naye bwe munaakyukanga ne mudda gye ndi, ne mukola bye mbalagira, nnaabakomyangawo okuva yonna gye munaabanga musaasaanidde mu nsi, ne mbateeka mu kifo kye nalonda okunsinzizangamu.’

10 Bano be bantu bo era abaweereza bo, be wanunuza obuyinza bwo obungi era n'amaanyi.

11 Kaakano, Ayi Mukama, tega okutu owulire okwegayirira kwange, n'okw'abaweereza bo abalala abakussaamu ekitiibwa. Ompe omukisa olwaleero, omusajja ono ankwatirwe ekisa.” Mu nnaku ezo nali musenero wa kabaka.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies