Isaaya 1 - Luganda Bible 20031 Buno bwe bubaka obufa ku Ggwanga lya Buyudaaya n'Ekibuga Yerusaalemu, Katonda bwe yawa Yisaaya mutabani wa Amozi, mu kiseera ky'obufuzi bwa bassekabaka ba Buyudaaya bano: Wuzziya, Yotamu, Ahazi, ne Heezeekiya. 26:1-23; 27:1-9; 28:1-27; 29:1–32:33 Katonda anenya abantu be 2 Mukama yagamba nti: “Ggwe eggulu wulira, naawe ensi tega okutu, muwulirize kye ŋŋamba! Abaana be nayola ne mbakuza, banjeemedde. 3 Ente emanya nnyini yo, n'endogoyi emanya ekifo mukama waayo w'agiriisiza, naye ab'Eggwanga lya Yisirayeli, okumanya kwabwe tekutuuka awo. Abantu bange tebalowooza.” 4 Zikusanze ggwe Eggwanga eryonoonyi, abantu abeetuumyeko ebibi, bazzukulu b'abakozi b'ebibi, abaana aboonoonefu. Muvudde ku Mukama. Munyoomodde Omutuukirivu wa Yisirayeli, ne mumukuba amabega. 5 Lwaki mwongera okuba abajeemu? Mwagala mwongere okubonerezebwa? Yisirayeli, omutwe gwo gwonna gujjudde biwundu, omutima gwo gunafuye. 6 Okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, tolinaawo katundu kalamu. Ojjudde binuubule, bikalabule, na biwundu. Ebiwundu byo si binaaze, wadde okusibibwako akawero. Tewali ddagala libiteekeddwako. 7 Ensi yammwe yonna efuuse matongo, n'ebibuga byammwe byokeddwa omuliro ne bisirikka. Abagwira balumbye ensi yammwe ne bagiwamba, era ne bazikiriza ebirimu, mmwe nga mulaba. 8 Siyooni kisigadde ng'akasiisira akali mu nnimiro y'emizabbibu, ng'ekiyumba ekikuumirwamu ennimiro y'emyungu, oba ng'ekibuga ekizingiziddwa. 9 Singa Mukama Nnannyinimagye teyatulekerawo ku bantu abatono ennyo b'atalizza, twandibadde ng'ab'e Sodoma, twandifuuse ng'ab'e Gomora. 10 Muwulire Mukama ky'agamba, mmwe abakulembeze ba Yerusaalemu, abali ng'ab'e Sodoma; mutege amatu mmwe abantu abali ng'ab'e Gomora, muwulire ebyo Katonda waffe by'abayigiriza. 11 Mukama agamba nti: “Ebitambiro byammwe ebingi, bingasa ki? Neetamiddwa ebitambiro ebyokebwa eby'endiga ennume, n'amasavu g'ensolo zammwe ezassava. Saagala musaayi gwa nte, wadde ogw'endiga ento, n'ogw'embuzi ennume. 12 Ani yabalagira eky'okujjanga obuzzi okulabika mu maaso gange, nnyini okulinnyirira empya zange? 13 Temwongera kuleeta bitone bitalina makulu. Neetamiddwa obubaane bwe munjotereza, n'embaga zammwe ez'Okuboneka kw'Omwezi, ne Sabbaato zammwe, era n'okuyita enkuŋŋaana. Sisobola kugumiikiriza nkuŋŋaana za ddiini, wamu n'ebibi. 14 Nkyayira ddala embaga zammwe ez'Okuboneka kw'Omwezi, n'ez'ennaku zammwe enkulu. Mbyetamiddwa, nkooye okubigumiikiriza. 15 “N'olwekyo bwe munaagololanga emikono gyammwe nga muliko kye munsaba, sijjanga kubatunuulira, era ne bwe munaasabanga okwenkana wa, sijjanga kuwuliriza, kubanga engalo zammwe zisaabaanye omusaayi. 16 Munaabe, mutukule. Mukomye obutali butuukirivu bwonna bwe ndaba mukola. Mulekere awo okukola ebibi, 17 muyige okukolanga ebirungi. Mufube okukolanga ebituufu, mugololenga abanyigiriza abalala, mulwanirirenga bamulekwa, muwolerezenga bannamwandu.” 18 Mukama agamba nti: “Kale mujje tuteese, tukkaanye. Ebibi byammwe ne bwe binaaba ebimyufu ng'omusaayi, nja kubanaaza mutukule ng'omuzira. Ne bwe binaaba bya langi mmyufu enkwafu, binaayamuka ne biba byeru ng'ennyange. 19 Bwe munaabanga abagonvu era abawulize, munaalyanga ebirungi ensi yammwe by'ebabaliza. 20 Naye bwe muneeremanga ne mujeema, munattibwanga. Nze Mukama, Nze njogedde.” Ekibuga ekikozi ky'ebibi 21 Ekibuga ekyali ekyesigwa, nga kifuuse ng'omukazi omwenzi! Edda ekyali kijjuddemu abantu abagoberera obwenkanya era abakola ebituufu, kaakati kirimu batemu. 22 Yerusaalemu, wali wa muwendo nga ffeeza, naye kati toliiko ky'ogasa; oli ng'omwenge ogutabuddwamu amazzi. 23 Abakulembeze bo bajeemu, era mikwano gya babbi. Bafa ku nguzi na ku birabo ebibaweebwa. Tebafaayo kulwanirira bamulekwa, wadde okuwuliriza bannamwandu bwe baleeta ensonga zaabwe. 24 Kale Mukama, Afugabyonna, Nnannyinimagye, Omuzira wa Yisirayeli, agamba nti: “Nja kuwoolera eggwanga ku mmwe abalabe bange, muleme kuddayo kuntawaanya. 25 Nja kubakolako, mbasengejje ng'ekyuma bwe kisengejjebwa, mbamalemu obukyafu bwammwe bwonna. 26 Nja kubawa abakulembeze n'abawi b'amagezi abalungi, nga bali be mwalina edda. Olwo Yerusaalemu kiriddamu okuyitibwa ekitukuvu era ekyesigwa.” 27 Mukama omwenkanya era omutuukirivu, ajja kununula Yerusaalemu, n'abaamu bonna abakyuka ne beenenya. 28 Wabula abajeemu n'abakola ebibi, balizikiririzibwa wamu, era n'abo abeggya ku Mukama, balimalibwawo. 29 Ensonyi ziribakwata mmwe olw'emiti gye mwasinzanga, n'olw'ennimiro ze mwawongera balubaale. 30 Muliba ng'omuti oguwotoka amakoola, era ng'ennimiro gye batafukirira. 31 Ab'amaanyi baliba ng'essubi ekkalu, ebibi bye bakola bibe ng'ensasi z'omuliro, baggyiire wamu nabyo, era tewaliba ayinza kuziyiza kuzikirizibwa kwabwe. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda