Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Ezeekyeri 1 - Luganda Bible 2003


OKULABIKIRWA KWA EZEEKYELI OKWASOOKA ( 1:1–7:27 ) Entebe ya Katonda

1 Awo olwatuuka ku lunaku olwokutaano olw'omwezi ogwokuna, mu mwaka ogw'amakumi asatu, bwe nali nga ndi wamu n'abasibe abalala ku mabbali g'Omugga Kebari mu Babilooniya, eggulu ne libikkulibwa, ne ndaba ebyo Katonda bye yansobozesa okulaba.

2 Ku lunaku olwo olwokutaano mu mwezi, nga gwe mwaka ogwokutaano bukya Kabaka Yehoyakiini atwalibwa mu buwaŋŋanguse,

3 nze Ezeekyeli kabona, mutabani wa Buuzi, Mukama n'ayogera nange nga ndi mu nsi eyo ey'Abakaludaaya, ku mabbali g'Omugga Kebari. Amaanyi ga Mukama ne gajja ku nze.

4 Awo ne ntunula, ne ndaba embuyaga ey'amaanyi, ekunta ng'eva ebukiikakkono. Ekire ekinene ekyetooloddwa okutangalijja, kyali kirimu omuliro ogumyansa obutasalako. Wakati mu muliro ogwo, mwalimu ekifaanana ng'ekikomo ekizigule.

5 Mu kyo wakati, ne ndabamu ebifaanana ng'ebintu ebiramu bina, ebirabika ng'abantu,

6 naye nga buli kimu kirina obwenyi buna n'ebiwaawaatiro bina.

7 Amagulu gaabyo gaali magolokofu, n'ebigere byabyo byali ng'ebinuulo by'ennyana, era nga bitangalijja ng'ekikomo ekizigule.

8 Ebintu ebyo ebiramu ebina ebyalina obwenyi n'ebiwaawaatiro, era byalina emikono ng'egy'abantu, nga giri wansi w'ebiwaawaatiro byabyo, ku njuyi zaabyo ennya.

9 Ebiwaawaatiro byabyo byagattibwa buli kimu ku kinnaakyo era ebiramu ebyo byagendanga butereevu mu maaso, nga buli kimu tekikyuka.

10 Byalina ekifaanana ng'obwenyi. Buli kimu kyalina obwenyi ng'obw'omuntu mu maaso, n'obwenyi ng'obw'empologoma ku ludda olwa ddyo, n'obwenyi ng'obw'ente ku ludda olwa kkono, ate n'obwenyi ng'obw'empungu emabega.

11 Bwe bityo bwe byali bifaanana mu bwenyi bwabyo. Ebiwaawaatiro byabyo bwe byeyanjuluzanga waggulu, ebibiri ebya buli kimu ne byekoona ku bya kinnaakyo ekikiriraanye, n'ebirala ebibiri ne bibikka omubiri gwakyo.

12 Buli kiramu kyagendanga butereevu omwoyo gye gubiraza, awatali kukyuka nga bigenda.

13 Wakati w'ebiramu ebyo ebina, waaliwo ekintu ekifaanana ng'amanda ag'omuliro agaaka ng'emimuli. Kyatambulanga ne kidda eno n'eri wakati mu biramu ebyo, era omuliro ogwo, gwayakanga nga guvaamu enjota.

14 Ebiramu ebyo byaddukanga embiro ate ne bidda, nga bw'olaba okumyansa kw'eggulu.


Okulabika kwa nnamuziga ennya

15 Bwe nali nga nkyatunuulira ebiramu ebyo, ne ndaba nnamuziga nnya nga ziri ku ttaka, nnamuziga emu emu ku mabbali ga buli kiramu.

16 Nnamuziga zonna ennya zaali zifaanana. Buli emu yali etangalijja ng'ejjinja ery'omuwendo, era ng'erabika ng'erimu nnamuziga endala wakati waayo.

17 Bwe zityo zaasobolanga okutambulira mu njuyi zonna ennya, awatali kumala kukyuka.

18 Empanka za nnamuziga ezo ennya, zaali mpanvu, nga zitiisa, era nga zijjudde amaaso enjuyi zonna.

19 Ebiramu ebyo bwe byatambulanga, nga nnamuziga zigendera ku mabbali gaabyo era bwe byasitukanga mu bbanga nga ne nnamuziga nazo zisituka.

20 Ebiramu gye byayagalanga okugenda, nga gye bigenda, era nga ne nnamuziga nazo gye zigenda, kubanga omwoyo gw'ebiramu gwali mu zo.

21 Ebyo bwe byatambulanga, oba bwe byayimiriranga, oba bwe byasitukanga mu bbanga, nga ne nnamuziga zikola kyekimu, kubanga omwoyo gwabyo gwali mu zo.

22 Waggulu w'emitwe gy'ebiramu, waaliyo ekifaanana ng'ebbanga ery'oku ggulu, eritangalijja ng'ekirawuli, era nga litiisa.

23 Wansi w'ebbanga eryo ery'oku ggulu, we waali ebiramu ebyo, nga buli kimu kigolodde ebiwaawaatiro bibiri, ebiwaawaatiro ebyo ne bikoona ku bya kinnewaakyo ekikiriraanye, ate ebibiri ne kibyebikka.

24 Bwe byabuukanga, ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro byabyo, nga biwuuma ng'okuyira kw'amazzi amangi, ng'oluyoogaano lw'eggye, era ng'eddoboozi ly'Omuyinzawaabyonna. Bwe byalekeranga awo okubuuka, ne bissa ebiwaawaatiro byabyo.

25 Bwe byalekeranga awo okubuuka, era nga bissizza wansi ebiwaawaatiro byabyo, ne wabaawo eddoboozi mu bbanga ery'oku ggulu waggulu w'emitwe gyabyo.

26 Era waggulu w'ebbanga eryali waggulu w'emitwe gyabyo, waaliwo ekifaanana ng'entebe ya kabaka, etemagana ng'ejjinja ery'omuwendo erya bbululu. Ku ekyo ekifaanana ng'entebe ya kabaka, kwali kutuddeko afaanana ng'omuntu.

27 Waggulu okuva ku kyalabika ng'ekiwato kye, ne ndaba ng'amasamasa ng'ekikomo ekizigule, ekiri ng'omuliro ku njuyi zonna. Ate wansi okuva ku kyalabika ng'ekiwato kye, ne ndaba ekiri ng'omuliro, era nga waliwo okutangalijja wonna w'ali,

28 okufaanana nga musoke mu kire ku lunaku olw'enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama. Bwe nakiraba, ne nneevuunika ku ttaka. Ne mpulira eddoboozi ly'oyo eyayogera.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies