Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Et 13 - Luganda Bible 2003

1 “Bwe wabangawo mu mmwe omulanzi oba omuvvuunuzi w'ebirooto, n'abasuubiza ekyewuunyo oba ekyamagero,

2 ekyewuunyo ekyo oba ekyamagero ekyo ne bwe kituukiriranga, kyokka n'abagamba nti: ‘Tusinzenga balubaale, be mutasinzangako, era tubaweerezenga’,

3 temuwulirizanga mulanzi oyo oba muvvuunuzi wa birooto oyo, kubanga Mukama Katonda wammwe aliba abageza bugeza, alabe oba nga mumwagala n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna.

4 Mugobererenga Mukama Katonda wammwe, era gwe muba mussangamu ekitiibwa. Mumuwulirenga era mukuumenga ebiragiro bye. Mumusinzenga era mumunywererengako.

5 Naye omulanzi oyo, oba omuvvuunuzi w'ebirooto oyo, attibwanga, kubanga abagamba okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu. Omuntu ng'oyo aba abawabya okubaggya mu mpisa, Mukama Katonda wammwe ze yabalagira okukwatanga, kyanaavanga attibwa ne mweggyako ekibi ekyo.

6 “Ne muganda wo bwe muzaalibwa nnyammwe omu, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba mukyala wo gw'oyagala ennyo, oba mukwano gwo ennyo ayinza okukusendasenda mu kyama ng'agamba nti: ‘Tugende tusinze balubaale, ggwe ne bajjajjaabo be mutasinzangako.’

7 Omu ku abo ayinza okukusendasenda okusinzanga balubaale b'amawanga agabeetoolodde, agali awo okumpi n'agali ewala, ku njuyi zonna ez'ensi.

8 Tokkirizenga by'akugamba, era toomuwulirizenga. Tomutunuulizanga kisa wadde okumusaasira, era toomuzibirenga,

9 wabula omuttanga. Ggwe obeeranga omusaale okumukuba amayinja, n'abalala bonna ne balyoka bagamukuba okumutta.

10 Onoomukubanga mayinja n'afa, kubanga agezezzaako okukusendasenda ove ku Mukama Katonda wo, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, gye mwafugirwanga obuddu.

11 Kale Abayisirayeli bonna banaawuliranga ekibaddewo ne batya, ne wataba n'omu mu mmwe addayo kukola kibi kyenkanidde awo.

12 “Bwe muwuliranga nga bagamba nti mu kimu ku bibuga, Mukama Katonda wammwe bye yabawa okubeeramu,

13 mulimu abantu ab'eggwanga lyammwe abataliimu nsa, abasenzesenze abatuuze b'omu kibuga kyabwe okusinza balubaale be mutasinzangako,

14 munekkaanyanga, ne munoonyereza, era ne mubuuliriza n'obwegendereza. Kale bwe kinaabanga ekituufu era ekikakafu nti eky'omuzizo ekyenkanidde awo kikoleddwa mu mmwe,

15 temulemanga kutta batuuze ba mu kibuga ekyo bonna n'amagana gaabwe, n'ebikirimu byonna, ne mukizikiririza ddala.

16 Ebintu byonna eby'abantu baamu, mubikuŋŋaanyizanga mu luguudo mu makkati g'ekibuga ekyo. Ekibuga n'ebintu byonna ebikirimu mubyokyanga, ne biba ekiweebwayo eri Mukama Katonda wammwe, ekyokebwa nga kiramba. Ekibuga ekyo kisigalanga matongo ennaku zonna ne kitaddamu kuzimbibwa.

17 Temwesigalizengawo kintu na kimu ku bikolimiddwa, olwo Mukama alyoke akomye obusungu bwe obungi. Alibakwatirwa ekisa, n'abasaasira n'abafuula bangi nga bwe yalayirira bajjajjammwe,

18 kasita munaamuwuliranga, ne mukuuma ebiragiro bye byonna bye mbawa olwaleero, ne mukolanga ebyo Mukama Katonda wammwe by'alaba nti bye bituufu.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies