Et 10 - Luganda Bible 2003Musa addamu okuweebwa ebiragiro ku bipande (Laba ne Kuv 34:1-10 ) 1 “Mu kiseera ekyo, Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Bajja ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka, era okole essanduuko ey'embaawo, oyambuke gye ndi ku lusozi. 2 Nja kuwandiika ku bipande ebyo ebigambo ebyali ku bipande biri eby'olubereberye bye wayasa, olwo obiteeke mu ssanduuko.’ 3 “Awo ne nkola essanduuko ey'omuti ogwa kasiya, ne mbajja n'ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka, ne nnyambuka ku lusozi nga nkutte ebipande byombi mu ngalo zange. 4 Mukama n'awandiika ku bipande ebyo ebigambo ebiri nga biri ebyasooka: Ebiragiro Ekkumi, Mukama bye yabawa mmwe ng'asinziira mu muliro wakati, ku lunaku lwe mwakuŋŋaanirako. Mukama n'ampa ebipande ebyo. 5 Ne nkyuka, ne nserengeta okuva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nakola, era biri omwo nga Mukama bwe yandagira.” 6 (Abayisirayeli ne batambula okuva ku nzizi z'Abayaakani ne batuuka e Mosera. Arooni n'afiira eyo, era eyo gye yaziikibwa. Mutabani we Eleyazaari n'amusikira mu mulimu gw'obwakabona. 7 Ne bavaayo ne batambula okutuuka e Gudugoda. Ne bava e Gudugoda ne batuuka e Yotubata, ensi erimu emigga gy'amazzi. 8 Mu kiseera ekyo Mukama n'ayawula ab'Ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso ge okumuweereza, n'okuwanga abantu omukisa mu linnya lye. Egyo gye mirimu gyabwe n'okutuusa kati. 9 Abaleevi kyebaava batafuna mugabo gwa ttaka ery'ensikirano nga baganda baabwe. Ku bya Mukama kwe bagabana, nga Mukama Katonda wammwe, bo bwe yabagamba.) 10 “Ne mbeera ku lusozi okumala ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, nga bwe nakola ku mulundi ogwasooka. Ne ku mulundi ogwo, Mukama n'awulira kye mmusaba, n'akkiriza obutabazikiriza mmwe. 11 Awo n'aŋŋamba nti: ‘Situka oyongere okutambula olugendo, okulembere abantu, bagende beefuge ensi gye nalayirira bajjajjaabwe okubawa.’ Katonda by'ayagaza Abayisirayeli 12 “Kale kaakano Abayisirayeli, Mukama Katonda wammwe ky'abaagaza, kye kino: Mussengamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa. Mukwatenga empisa ennungi z'abalagira. Mumwagalenga era mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, 13 era mukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye mbawa olwaleero mulyoke mube bulungi. 14 Eggulu lyonna gye likoma okutumbiira, lya Mukama Katonda wammwe, era n'ensi yiye, n'ebigirimu byonna. 15 Naye Mukama yalumirwa nnyo bajjajjammwe, n'abaagala era n'okutuusa kati, kyeyava yeeroboza mmwe bazzukulu baabwe, mu b'amawanga amalala gonna. 16 Kale mubeerenga bawulize eri Mukama, mulekere awo okuba abakakanyavu, 17 kubanga Mukama Katonda wammwe mukulu okusinga balubaale bonna. Ye Mukama w'abafuzi, ow'amaanyi era ow'entiisa, atasaliriza, era atalya nguzi. Bag 2:6; Beef 6:9 18 Asala mu bwenkanya ensonga za bamulekwa ne bannamwandu. Alumirwa abagwira abali mu mmwe, n'abawa ebyokulya n'ebyokwambala. 19 Kale mwagalenga abagwira abo, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y'e Misiri. 20 Mussengamu ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, era Ye gwe mubanga muweereza. Mumunywererengako, era mu linnya lye, mwe mubanga mulayirira. 21 Mumutenderezenga. Ye Katonda wammwe. Mwerabirako n'amaaso gammwe ebikulu era eby'entiisa bye yabakolera. 22 Bajjajjammwe baagenda e Misiri nga bali abantu nsanvu bokka, naye kaakano Mukama Katonda wammwe, mmwe abafudde bangi ng'emmunyeenye eziri ku ggulu. |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda