Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Abalam 21 - Luganda Bible 2003


Okulabira Ababenyamiini abakazi

1 Abayisirayeli baali balayiridde e Mizupa nti: “Tewali n'omu mu ffe aliwa wa mu Kika kya Benyamiini muwala we okumuwasa.”

2 Awo Abayisirayeli ne bagenda e Beteli, ne batuula eyo mu maaso ga Mukama, okutuusa akawungeezi. Ne batema emiranga ne bakaaba nnyo amaziga,

3 nga bagamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, kivudde ku ki Ekika kya Benyamiini okusaanawo mu Yisirayeli?”

4 Enkeera mu makya, abantu ne bazimba alutaari, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana.

5 Ne babuuza nti: “Baani ab'omu Bika bya Yisirayeli, abataayambuka mu lukuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa?” Baali beeyamye obweyamo obw'amaanyi nti buli atalyambuka Mizupa, yali wa kuttibwa.

6 Abayisirayeli ne basaalirwa olwa baganda baabwe Ababenyamiini, ne bagamba nti: “Olwaleero Yisirayeli afiiriddwa ekimu ku Bika bye!

7 Abasajja Ababenyamiini abasigaddewo, tunaabalabira tutya abakazi ab'okuwasa, ng'ate twalayirira Mukama obutabawa bawala baffe?”

8 Ne babuuza nti: “Baani ab'omu Bika bya Yisirayeli abataayambuka Mizupa mu lukuŋŋaana mu maaso ga Mukama?” Ne bazuula nga mu Yabesi eky'e Gileyaadi tewali n'omu yajja mu lusiisira mu lukuŋŋaana.

9 Kubanga abantu bwe baabalibwa, tewaaliwo n'omu ku batuuze b'omu Yebusi eky'e Gileyaadi.

10 Ekibiina ne kitumayo abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri ku abo abasinga obuzira, ne babalagira nti: “Mugende mutte ab'omu Yebusi eky'e Gileyaadi, obutataliza mukazi na mwana.

11 Kino kye muba mukola: muzikiririze ddala buli musajja na buli mukazi atali mbeerera.”

12 Mu batuuze b'omu Yebusi eky'e Gileyaadi ne basangayo abawala abato embeerera ebikumi bina, ne babaleeta mu lusiisira e Siilo, ekiri mu nsi ya Kanaani.

13 Awo ekibiina kyonna, ne kitumira Ababenyamiini abaali ku lwazi lw'e Rimmoni obubaka obw'okukomya olutalo.

14 Awo Ababenyamiini ne bakomawo, Abayisirayeli abalala ne babawa abawala ab'e Yebusi abatattibwa, naye ne batabamala bonna.

15 Abantu ne basaalirwa olw'Ababenyamiini, kubanga Mukama yali aggyeewo okwegatta mu Bika bya Yisirayeli!

16 Awo abakulembeze mu kibiina ne bagamba nti: “Tewakyaliwo bakazi mu Babenyamiini. Abasajja abasigaddewo, tunaabalabira wa abakazi?

17 Tusaanye okubaako kye tukolawo okukuuma Ababenyamiini abaasigalawo, ekika kireme okusangulibwawo mu Yisirayeli.

18 Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe kubawasa, kubanga Abayisirayeli twalayira ne tukolimira buli aliwa Omubenyamiini muwala we okumuwasa.”

19 Ne bagamba nti: “Waliwo embaga ya Mukama eya buli mwaka mu Siilo.” Siilo kiri mu bukiikakkono obwa Beteli, n'obukiikaddyo obwa Lebona, mu buvanjuba bw'oluguudo oluva e Beteli okwambuka e Sekemu.

20 Awo ne bagamba Ababenyamiini nti: “Mugende muteegere mu nnimiro z'emizabbibu,

21 mutunule. Abawala b'e Siilo bwe bafuluma okuzina amazina, ku bawala abo, mugende nabo mu kitundu kya Benyamiini.

22 Bakitaabwe oba bannyinaabwe bwe balijja gye muli okuvunaana, mubagambanga nti: ‘Tubeegayiridde, mubatulekere, kubanga tetwababanyagaako mu lutalo okubafuula bakazi baffe. Ate nga bwe mutaabatuwa, temulina musango gwa kumenya bweyamo bwammwe.’ ”

23 Awo Ababenyamiini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi ku bawala abaali bazina, ne batwala. Ne baddayo mu kitundu kyabwe, ne bazimba ebibuga ne babeera omwo.

24 Awo Abayisirayeli abalala ne bavaayo, buli omu n'adda mu bantu be, ne mu kibanja kye.

25 Mu nnaku ezo tewaali kabaka mu Yisirayeli. Buli muntu yakolanga nga bw'ayagala.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies