Abalam 10 - Luganda Bible 2003Tola (Omulamuzi ow'omusanvu) 1 Abimeleki bwe yamala okufa, Tola mutabani wa Puwa era muzzukulu wa Dodo, n'ajja okununula Yisirayeli. Yali wa mu Kika kya Yissakaari, ng'abeera mu Samiri mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. 2 N'aba omukulembeze wa Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri mu esatu, n'afa ne bamuziika mu Samari. Yayiri (Omulamuzi ow'omunaana) 3 Tola bwe yavaawo, ne waddawo Yayiri, eyava e Gileyaadi. N'akulembera Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri. 4 Yalina batabani be amakumi asatu, abeebagalanga endogoyi amakumi asatu. Baalina ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gileyaadi, ebikyayitibwa Ebyalo bya Yayiri. 5 Yayiri yafa ne bamuziika mu Kamoni. Abayisirayeli baweereza balubaale 6 Abayisirayeli ne beeyongera nate okukola ebibi ne banyiiza Mukama, nga basinza Babbaali ne Asitarooti, ne balubaale b'e Siriya n'ab'e Sidoni, n'ab'e Mowaabu, ne balubaale b'Abammoni n'ab'e Filistiya. ne bava ku Mukama, ne batamuweereza. 7 Mukama n'asunguwalira Abayisirayeli, n'aleka Abafilistiya n'Abammoni okubawangula. 8 Okumala emyaka kkumi na munaana, ne banyigiriza era ne bayigganya Abayisirayeli bonna abaali emitala w'omugga Yorudaani, mu nsi y'Abaamori, eri mu Gileyaadi. 9 Abammoni ne basomoka Omugga Yorudaani nabo okulwanyisa ekika kya Yuda n'ekya Benyamiini, n'ekya Efurayimu. Yisirayeli ne yeeraliikirira nnyo. 10 Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama nga bagamba nti: “Twayonoona mu maaso go, kubanga twakuvaako, ggwe Katonda waffe, ne tuweereza Babbaali.” 11 Mukama n'abaddamu nti: “Saabawonya Abamisiri, n'Abaamori, n'Abammoni n'Abafilistiya? 12 Era n'Abasidoni, n'Abamaleki n'Abamawoni baababonyaabonya mmwe, ne munkaabirira, ne mbabawonya. 13 Naye mwanvaako ne muweereza balubaale, kyenva ŋŋaana okuddamu okubanunula. 14 Mugende mukaabirire balubaale mu bizibu.” 15 Naye Abayisirayeli ne bagamba Mukama nti: “Twayonoona. Tukoleko kyonna ky'onoolaba nga kisaana, naye tukwegayiridde tununule.” 16 Ne beggyako balubaale abagwira, ne baweereza Mukama. N'alumwa omwoyo olw'okubonaabona kwa Yisirayeli. 17 Awo Abammoni ne bakuŋŋaana ne basiisira e Mizupa mu Gileyaadi. 18 Abantu abakulu ab'e Gileyaadi ne beebuuzaganya nti: “Ani anaakulembera olutalo lw'okulwanyisa Abammoni? Oyo ye aliba omukulembeze wa bonna mu Gileyaadi.” |
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.
Bible Society of Uganda