Aanlyn Bybel

- Advertensies -

2 Timoseewo 1 - Luganda Bible 2003

1 Nze Pawulo, Katonda gwe yasiima okuba omutume wa Kristo Yesu, n'okutegeeza abantu ebifa ku bulamu obwatusuubizibwa, bwe tufunira mu Kristo Yesu,

2 mpandiikira ggwe omwana wange omwagalwa Timoteewo. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, bakusaasire, era bakuwe emirembe.


Okwebaza n'okugumya

3 Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi, nga bajjajjange bwe baakola. Bulijjo mmwebaza bwe nkujjukira nga mmwegayirira emisana n'ekiro.

4 Bwe nzijukira amaziga ge wakaaba, neegomba okukulaba, ndyoke njijule essanyu.

5 Nzijukira okukkiriza kwo okw'amazima, era ne jjajjaawo Looyi ne nnyoko Ewuniike kwe baalina, era kaakati nkakasa nti naawe okulina,

6 kyenva nkujjukiza okuseesanga omuliro gw'ekirabo ekiri mu ggwe, Katonda kye yakuwa bwe nakussaako emikono gyange.

7 Mwoyo Katonda gwe yatuwa, tatufuula bati, wabula atujjuza amaanyi, n'okwagala n'okwegenderezanga.

8 N'olwekyo tokwatibwanga nsonyi okwogera ku bya Mukama waffe, wadde ku nze omusibe we; wabula naawe bonaabona olw'Amawulire Amalungi, ng'oyambibwa amaanyi ga Katonda,

9 eyatulokola, n'atuyita tube ababe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku ebyo bye twakola, wabula ng'asinziira ku kuteesa kwe ne ku kisa kye, kye yatukwatirwa ng'ayita mu Yesu Kristo okuva edda n'edda lyonna.

10 Kaakano ekisa ekyo kitegeereddwa mu kulabika kw'Omulokozi waffe Kristo Yesu, eyaggyawo okufa, n'aleeta obulamu obutaggwaawo, ng'ayita mu Mawulire Amalungi.

11 Katonda yannonda ntegeeze abantu Amawulire Amalungi ng'omutume we era omuyigiriza,

12 era kyenva mbonaabona bwe ntyo. Kyokka sikwatibwa nsonyi, kubanga mmanyi gwe nakkiriza, era nkakasa nti ayinza okukuuma ekyo kye namuteresa, okutuusa ku lunaku luli.

13 Gobereranga ebigambo eby'amazima bye wawulira njogera, era nywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala, bye tulina nga tuli mu Kristo Yesu.

14 Ekirungi eky'omuwendo kye wateresebwa kikuumenga, ng'oyambibwa Mwoyo Mutuukirivu abeera mu ffe.

15 Omanyi nti ab'omu Asiya bonna banjabulira. Mu abo mwe muli Fugelo ne Erumogene.

16 Mukama akwatirwe ekisa ab'omu maka ga Onesiforo, kubanga yambeesabeesa emirundi mingi, era teyakwatibwa nsonyi olw'okubanga ndi musibe.

17 Bwe yatuuka e Rooma, yafuba nnyo okunnoonya, era n'anzuula.

18 Bw'alituuka mu maaso ga Mukama ku lunaku luli, Mukama amukwatirwe ekisa. Era ggwe omanyi bulungi nnyo byonna bye yakola mu Efeso.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies