Aanlyn Bybel

- Advertensies -

1 Peetero 1 - Luganda Bible 2003


Okulamusa

1 Nze Peetero omutume wa Yesu Kristo, mpandiikira mmwe abalondemu ba Katonda, abali kati mu Ponto, Galatiya, Kapadookiya, Asiya ne mu Bitiniya, gye mwasaasaanira.

2 Okuva edda Katonda Kitaffe yabalonda mmwe, Mwoyo Mutuukirivu abatukuze, muwulire Yesu Kristo, era mumansibweko omusaayi gwe. Katonda ayongere okubakwatirwa mmwe ekisa, era n'okubawa emirembe.


Essuubi

3 Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo yeebazibwe. Olw'okusaasira kwe okungi, yatuzaala omulundi ogwokubiri, bwe yazuukiza Yesu Kristo. Bw'atyo n'atuwa essuubi eddamu,

4 ery'okufuna ebirungi ebitaggwaawo, Katonda by'abaterekedde mmwe mu ggulu, gye bitayinza kwonoonekera wadde okufuma.

5 Olw'okukkiriza kwammwe, Katonda abakuuma n'obuyinza bwe, era alibalokola ku lunaku olw'enkomerero, lwe yategeka okulokolerako.

6 Ekyo kibasanyusenga, newaakubadde muteekwa okunakuwala okumala akaseera, nga mugezebwa mu bizibu ebya buli ngeri,

7 okugezebwa okwo kulyoke kulage nti okukkiriza kwammwe kwa mazima. Ne zaabu aggwaawo, naye agezebwa mu muliro. N'okukkiriza kwammwe okw'omuwendo okusinga zaabu, kuteekwa okugezebwa, kulyoke kusaanire ettendo, n'ekitiibwa, n'okugulumizibwa, ku lunaku Yesu Kristo lw'alirabikirako.

8 Yesu oyo mumwagala, newaakubadde temumulabangako. Mumukkiriza, newaakubadde temumulaba kaakano, ne mujjula essanyu ery'ekitalo era eritalojjeka,

9 ne mufuna kye mwagenderera mu kukkiriza, kwe kulokoka kw'obulamu bwammwe.

10 Eby'okulokoka okwo, abalanzi abaalanga ekisa ekyo Katonda kye yali agenda okubakwatirwa mmwe, baabirowoozangako nnyo, ne babyekenneenya.

11 Baagezaako okumanya ebiseera ebyo Mwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalanga, we birituukira, era n'engeri gye birituukamu, bwe yalanga nga Kristo bw'alibonyaabonyezebwa, era n'ekitiibwa ekiriddirira.

12 Katonda yabalaga nti ebyo tebaabikola ku lwabwe, wabula ku lwammwe. By'ebyo kaakano bye mubuuliddwa abo ababategeeza Amawulire Amalungi ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, eyatumibwa okuva mu ggulu. Era by'ebyo bamalayika bye beegomba okulaba.


Twayitibwa kuba batukuvu

13 Kale mubenga beetegefu era mwefugenga. Essuubi lyammwe lyonna muliteekenga mu kisa ekiribakwatirwa, Kristo bw'alirabika.

14 Mube baana bawulize. Obulamu bwammwe temubutambulizanga mu kwegomba kwe mwalina nga mukyali mu butamanya,

15 naye mubenga batukuvu mu mpisa zammwe zonna, nga Katonda eyabayita bw'ali omutuukirivu.

16 Kyawandiikibwa nti: “Mubenga batuukirivu, kubanga nze ndi omutuukirivu.”

17 Oba nga Katonda mumuyita Kitammwe, ate ng'asala omusango awatali kusaliriza, ng'asinziira ku ebyo buli muntu by'akola, kale mumussengamu ekitiibwa ekiseera kyonna eky'obulamu bwammwe.

18 Mumanyi nga ffeeza oba zaabu ebiggwaawo, si bye byabanunula mu mpisa zammwe ezitaliimu, ze mwafuna ku bajjajjammwe.

19 Mwanunulibwa musaayi ogw'omuwendo ennyo, omusaayi gwa Kristo, ali ng'omwana gw'endiga ogutaliiko kamogo wadde ebbala.

20 Kristo oyo yali yalonderwa dda kino nga n'ensi tennatondebwa, kyokka mu nnaku zino ezaakayita, n'alabibwa ku lwammwe.

21 Mu ye mwe muyita okukkiriza Katonda eyamuzuukiza n'amuwa ekitiibwa, okukkiriza kwammwe n'okusuubira kwammwe ne kulyoka kunywerera ku Katonda.

22 Kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe nga mukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala ng'abooluganda, mweyongere okwagalana n'omutima ogutaliimu bukuusa.

23 Mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. Ekyo ekiggwaawo si kye kyabazaala, wabula mwazaalibwa ekyo ekitaggwaawo: kye kigambo kya Katonda ekiwa abantu obulamu era ekyolubeerera.

24 Ng'ekyawandikibwa bwe kigamba, “Abantu bonna bali ng'omuddo, n'ekitiibwa kyabwe kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.

25 Naye ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe gyonna.” Era ekigambo ekyo, ge Mawulire Amalungi agaabategeezebwa.

Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies