Oluyimba 1 - Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya1 Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna. Omwagalwa 2 Leka annywegere n’emimwa gye kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo, 3 n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi; erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa, era abawala kyebava bakwagala. 4 Baako ne gy’ontwala, yanguwa! Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye. Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu; era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo. Nga batuufu okukwegomba! Abemikwano Omwagalwa 5 Ndi muddugavu, ndi mulungi, Mmwe abawala ba Yerusaalemi muli ng’eweema ez’e Kedali, era ng’entimbe za Sulemaani. 6 Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu, olw’okuba omusana gunjokezza. Batabani ba mmange baansunguwalira; ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu. Ennimiro yange ngigayaaliridde. 7 Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo, ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu. Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo? Abemikwano 8 Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi, goberera ekkubo endiga lye zikutte, ogende oliisize embuzi zo ento, okumpi n’eweema z’abasumba. Owoomukwano 9 Omwagalwa wange, nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo. 10 Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu, n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo. 11 Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu, nga birina amapeesa aga ffeeza. Omwagalwa 12 Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye, akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi. 13 Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli gye ndi, ng’awummulidde mu kifuba kyange. 14 Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi. Owoomukwano 15 Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange oli mubalagavu olabika bulungi. Amaaso go mayiba. Omwagalwa 16 Olabika bulungi muganzi wange, era onsanyusa. Ekitanda kyaffe kya muddo muto. Owoomukwano 17 Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule, n’enzooba zaffe nkanaga. |
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc.
Luganda Contemporary Bible
Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.®
Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Biblica, Inc.