Zabbuli 1 - BIBULIYA ENTUKUVUEKITABO I (ZAB 1-41) Amakubo abiri 1 Yeesiimye omuntu atatambulira ku bibuuliriro by'ababi, atayimirira mu kkubo ly'aboonoonyi, n'atatuula mu nkiiko z'abanyoomi. 2 Wabula essanyu lye limuli mu tteeka lya Mukama; yeebuulirira ku tteeka lye emisana n'ekiro. 3 Ali ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'emyala egy'amazzi, ogussaako ebibala byagwo mu budde bwagwo, n'ebikoola byagwo ebitawotookerera; buli ky'akola kigenda bulungi. 4 Si bwe batyo ababi! Wabula bali ng'enfuufu empewo gy'ekuŋŋunsiza eri. 5 N'olw'ekyo ababi tebaliyimirirawo mu kulamulibwa, newandibadde aboonoonyi mu lukuŋŋaana lw'abatuukirivu. 6 Kubanga Omukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu; naye ekkubo ly'ababi lirizikirira. |
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.
Bible Society of Uganda