Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Matayo 1 - BIBULIYA ENTUKUVU


I. OBUTO BWA YEZU Olulyo lwa Yezu Kristu

1 Ekitabo ky'olulyo lwa Yezu Kristu omwana wa Dawudi, omwana wa Yiburayimu:

2 Yiburayimu yazaala Yizaake, Yizaake n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be,

3 Yuda n'azaala Perezi ne Zera mu Tamari, Perezi n'azaala Kezuroni, Kezuroni n'azaala Aramu,

4 Aramu n'azaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Nakusoni, Nakusoni n'azaala Salumoni,

5 Salumoni n'azaala Bowazi mu Rakabu, Bowazi n'azaala Obedi mu Ruusi, Obedi n'azaala Yesse,

6 Yesse n'azaala Dawudi kabaka. Dawudi yazaala Solomoni mu yali muka Wuriya.

7 Solomoni n'azaala Rekobowamu, Rekobowamu n'azaala Abiya, Abiya n'azaala Asa,

8 Asa n'azaala Yosafati, Yosafati n'azaala Yoramu, Yoramu n'azaala Wuzziya,

9 Wuzziya n'azaala Yotamu, Yotamu n'azaala Akazi, Akazi n'azaala Kezekiya,

10 Kezekiya n'azaala Manasse, Manasse n'azaala Amosi, Amosi n'azaala Yosiya.

11 Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu budde obw'okutwalibwa mu busibe mu Babiloni.

12 Oluvannyuma lw'obusibe mu Babiloni, Yekoniya yazaala Seyalutyeli, Seyalutyeli n'azaala Zerubabbeli,

13 Zerubabbeli n'azaala Abiyudi, Abiyudi n'azaala Eliyakimu, Eliyakimu n'azaala Azori,

14 Azori n'azaala Zadoki, Zadoki n'azaala Akimu, Akimu n'azaala Eliyudi,

15 Eliyudi n'azaala Eleyazari, Eleyazari n'azaala Mattani, Mattani n'azaala Yakobo,

16 Yakobo n'azaala Yozefu bba Mariya, Mariya ono ye yazaala Yezu ayitibwa Kristu.

17 Amazadde bwe gatyo: okuva ku Yiburayimu okutuuka ku Dawudi, gaali kkumi n'ana, okuva ku Dawudi okutuusa ku kutwalibwa mu busibe mu Babiloni gaali kkumi n'ana, ate okuva ku busibe mu Babiloni okutuuka ku Kristu, nago amazadde gaali kkumi n'ana.


Okuzaalibwa kwa Yezu

18 Okuzaalibwa kwa Yezu Kristu kwali bwe kuti: Mariya nnyina ng'amaze okwogerezebwa Yozefu, nga tebannaba kubeera wamu, n'alabika ng'ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.

19 Naye Yozefu bba, kubanga yali mutuukirivu era nga tayagala kumuswaza, n'ateesa okumugoba mu kyama.

20 Yali akyalowoolereza ekyo, malayika w'Omukama n'amulabikira mu kirooto, n'amugamba nti: “Yozefu, mutabani wa Dawudi, totya kuyingiza mumwo Mariya mukazi wo, kubanga olubuto lw'alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.

21 Ajja kuzaala omwana wa bulenzi, ggwe onoomutuuma Yezu, kubanga alirokola abantu be mu bibi byabwe.”

22 Ebyo byonna byaba bityo Omukama kye yayogera ng'ayita mu mulanzi kituukirire nti:

23 “Laba, omuwala embeerera anaaba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; erinnya lye balimuyita Emmanweli,” ekivvuunulwa nti: 'Katonda ali naffe'.

24 Yozefu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika w'Omukama bwe yali amulagidde, n'atwala mukazi we,

25 n'atamumanyira ddala okutuusa lwe yazaala omwana, n'amutuuma Yezu.

BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies