Luusi 3 - BIBULIYA ENTUKUVU1 Olumu Nawomi, nnyazaala we, n'amugamba nti: “Muwala, olowooza sandikuzuulidde we wandibadde owummulira n'oba bulungi? 2 Ne Bowazi nnyini bawala b'obadde nabo mu nnimiro, si wa luganda lwaffe? Ate laba ekiro kino yennyini ajja kubeera ng'awewa sayiri mu gguuliro lye. 3 Awo nno, naaba, weekube obuwoowo, oyambale engoye zo ennungi, oserengete mu gguuliro; naye tomweraga okutuusa ng'amaze okulya n'okunywa. 4 Bw'anaaba agenze okwebaka, wekkaanye ekifo we yeebase; oluvannyuma ojja kugenda obikkule ebigere bye, weebake, ye anaakubuulira eky'okukola.” 5 Ruusi n'addamu nti: “Kyonna ky'onooba ondagidde, nzija kukikola.” 6 N'aserengeta mu gguuliro, n'akola byonna nnyazaala we bye yali amulagidde. 7 Bowazi bwe yamala okulya n'okunywa, ng'acamuseemu, n'agenda yeebaka eri egguuliro gye likoma kumpi n'entuumu z'emiganda. Ruusi n'asooba mpola n'amubikkula ebigere, ne yeebaka awo. 8 Mu ttumbi wakati Bowazi ekintu ne kimusisimula, n'asituka, n'alaba omukazi nga yeebase eri ku bigere bye. 9 N'amubuuza nti: “Ggwe ani?” Ko ye nti: “Nze Ruusi omuzaana wo. Bikka omuzaana wo n'omunagiro gwo kubanga ggwe oteekwa okunnunula.” 10 Ko Bowazi nti: “Muwala, Omukama akuwe omukisa; ekisa n'obwesigwa bwo kati bisinze n'ebyasooka, kubanga tozze mu kunoonya bavubuka, abaavu oba abagagga. 11 Leka nno kutya, muwala; kyonna ky'onoogamba nzija kukikukolera; anti abantu bonna ab'omu kibuga kyange bakumanyi bw'oli omukazi ow'ekitiibwa. 12 Sigaanyi, nze nteekeddwa okukununula, naye waliyo ow'oluganda obuvunaanyizibwa obw'okukununula gwe bugwako ennyo okusinga nze. 13 Sigala ekiro kino; nga bukedde, bw'anaayagala okukununula, kale anaakununula; bw'anaaba tayagadde, Mazima Omukama nga mulamu, tewali kubuusabuusa, nze nnaakununula. Weebake okutuusa enkya.” 14 Ruusi ne yeebaka awo ku bigere bye okutuusa enkeera; naye yazuukuka bukyali ng'abantu tebannasobola kwawula ono ku oli. Bowazi n'agamba nti: “Wekkaanye! Tewabaawo amanya nti omukazi yazzeeko wano mu gguuliro.” 15 N'agamba era nti: “Ndeetera omunagiro gwe weebikkiridde, ogwanjuluze.” Bwe yagwanjuluza, Bowazi n'ayiwamu ebipimo mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka. N'addayo mu kibuga. 16 Ruusi bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n'amubuuza nti: “Muwala, bikugendedde bitya?” Ruusi n'amunyumiza byonna oli bye yali amukoledde, 17 n'ayongerako nti: “Yampadde n'ebipimo mukaaga ebya sayiri ng'agamba nti: ‘Saagala odde wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ” 18 Nawomi n'agamba nti: “Muwala, lindako okutuusa ng'otegedde gye bikkidde, kubanga mmanyi omuntu oyo tajja kuweera okutuusa ng'ebintu abigonjodde olwa leero.” |
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.
Bible Society of Uganda