Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Koseya 1 - BIBULIYA ENTUKUVU


Ennyanjula

1 Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Ozeya mutabani wa Beeri mu mirembe gya Wuzziya, Yotamu, Akazi ne Kezekiya bakabaka ba Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowamu mutabani wa Yowasi kabaka wa Yisirayeli.


I. OBUFUMBO BWA OZEYA N'AMAKULU GAABWO Mukazi wa Ozeya n'abaana be

2 Omukama bwe yasooka okwogera ne Ozeya, yamugamba nti: “Genda, owase omukazi malaaya, azaale n'abaana mu bwamalaaya, kubanga ensi ekoze obwamalaaya bw'etebadde neesigwa eri Omukama.”

3 N'agenda n'awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n'aba olubuto n'amuzaalira omwana mulenzi.

4 Omukama n'amugamba nti: “Mutuume erinnya lye Yezureeli, kubanga wanaayita akabanga katono ne mbonereza ennyumba ya Yewu olw'okusanjaga okwali e Yezureeli, nkomye n'obwakabaka bwa Yisirayeli.

5 Ate mu lunaku olwo ndimenya omutego gwa Yisirayeli ogw'akasaale mu kiwonvu kya Yezureeli.”

6 Gomeri yaddamu n'aba olubuto, n'azaala omwana muwala; Omukama n'agamba Ozeya nti: “Mutuume erinnya lye Lo-Rukama kubanga sikyaddayo kusaasira nnyumba ya Yisirayeli, mbu mbaddiremu.

7 Naye ndiraga ekisa ennyumba ya Yuda; ndibalokola, naye si na musaale, oba na kitala, oba na lutalo, oba na mbalaasi yadde beebagazi, wabula na Mukama Katonda waabwe.”

8 Bwe yaggya Lo-Rukama ku mabeere, era n'aba olubuto, n'azaala omwana mulenzi.

9 Omukama n'amugamba nti: “Mutuume erinnya lye Lo-Ammi, kubanga mmwe temuli bantu bange, nange mundaba ng'atali wammwe.

BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies