Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Firemooni 1 - BIBULIYA ENTUKUVU


Okulamusa

1 Pawulo, omusibe wa Kristu Yezu, ne muganda waffe Timotewo. Ya mukozi munnaffe Filemoni omwagalwa,

2 ne mwannyinaffe Affiya, mutabaazi munnaffe Arikippo, n'Ekleziya asisinkana mu nnyumba yo.

3 Enneema ebeere nammwe, n'eddembe lya Katonda Kitaffe n'Omukama Yezu Kristu.


Okwebaza

4 Bulijjo neebaza Katonda buli lwe nkujjukira mu ssaala zange,

5 kubanga mpulira ku kwagala kw'oyagalamu abatuukirivu bonna, n'okukkiriza kw'okkirizaamu Omukama Yezu.

6 Nsaba nti okussa ekimu kw'olina mu kukkiriza kukole mu ggwe, omanye na buli kirungi kye tulina mu Kristu.

7 Okwagala kwo kwansanyula bya kitalo era ne kunkubagiza, kubanga olw'okubeera ggwe, emitima gy'abatuukirivu giweweddeko.


Okuwanjaga olwa Onesimo

8 Newandibadde mu Kristu nandigumye okukulagira ky'osaanye okukola,

9 naye olw'okubeera okwagala, nkuwanjagira buwanjagizi; nze Pawulo, omukadde ate kati omusibe wa Kristu Yezu,

10 nkuwanjagira olw'omwana wange gwe nazaala nga ndi mu njegere zino, ntegeeza Onesimo.

11 Mu kusooka yali takugasa, naye kati atugasa ffembi, nze naawe.

12 Mmukusindikidde akomewo, oyo kyenkana omutima gwange gwennyini.

13 Nandyagadde mmusigaze, ggwe w'otoli annyambe nga ndi mu njegere olw'Evangili,

14 naye saayagala kukola kantu nga ggwe tokkirizza, ky'okola ekirungi kireme kubeera ng'eky'etteeka, wabula kibeere ekivudde mu kwetuma.

15 Ndowooza yakuggyibwako akaseera, alyoke akuddizibwe nkomeredde,

16 nga takyali muddu, wabula ng'asinga n'omuddu, owooluganda omwagalwa, omuganzi gye ndi, ate asingawo n'obuganzi gy'oli ng'omuntu ate ne mu Mukama.

17 Kale nno bw'oba ng'ontwala nga munno, mwanirize nga bwe wandyanirizza nze.

18 Bw'aba ng'aliko kye yakusobyamu, oba ng'oliko ky'omubanja, kibalire ku nze.

19 Nze Pawulo, kino nkiwandiise n'omukono gwange gwennyini nti ndikisasula, ne bwe siiyogere ku bbanja ggwe ly'onninako.

20 Kale nno, owooluganda, njagala ombeerere wa mugaso mu Mukama, omutima gwange oguwe guweweereko mu Kristu.

21 Nkuwandiikidde nga neesize obuwulize bwo, nga mmanyi nti ojja kukola ate osinzeewo ne ku kye nsaba.


Okusiibula

22 Ate mu kaseera ke kamu, ntegekeraawo ekisenge, kubanga nsuubira nti olw'essaala zammwe nnyinza okubaddizibwa.

23 Epafura, musibe munnange mu Kristu Yezu, akutumidde;

24 era ne bannange bwe tukola: Mariko, Aristariko, Dema ne Luka.

25 Eneema ya Mukama waffe Yezu Kristu ebeere n'omwoyo gwammwe.

BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies