Et 9 - BIBULIYA ENTUKUVU1 “Wulira, Yisirayeli, oli kumpi kusomoka Yorudani, oyingire, otwale amawanga agakusinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebirina bbugwe akoma eyo ku ggulu, 2 abantu abanene abawagguufu, Abaanaki. Naawe obamanyi era n'enjogera wali ogiwuliddeko nti: ‘Abaanaki ani anaabaŋŋanga?’ 3 Kino kitegeere olwa leero nti Omukama Katonda wo akukulemberamu mu kusomoka, muliro ogugenda gusenkenya. Ajja kubamerengula, abafufuggaze mu maaso go, olyoke obagobe mangu obasaanyeewo, nga bwe yakugamba. 4 Omukama Katonda wo bw'amalanga okubakugoberawo, togambanga mu mutima gwo nti: ‘Omukama yandeeta ne ntwala ensi eno lwa kubeera butuukirivu bwange.’ Ekituufu kye kino, nti amawanga ago Omukama ajja kugakugoberawo kubanga mabi. 5 Ogenda kutwala ensi zaabwe si lwa butuukirivu na bwesimbu bwa mutima gwo, wabula kubanga amawanga ago mabi. Omukama Katonda wo ajja kugagobawo mu maaso go, atuukirize ekigambo kye kye yalayirira bajjajjaabo: Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo. 6 Kino kitegeere, nti Omukama Katonda wo okukuwa ensi eno ennungi ogitwale, tekivudde ku butuukirivu bwo, kubanga mmwe muli bantu ba nsingo nkakanyavu. Ebyokulabirako by'obukakanyavu bwabwe a. Akayana ka zaabu ku Korebu 7 “Jjukira, teweerabiranga lwe wasunguwaza Omukama Katonda wo mu ddungu; okuva ku lunaku luli lwe wava mu Misiri n'okutuukira ddala mu kifo kino, ojeemera Omukama. 8 Ne ku Korebu wasunguwaza Omukama, n'asunguwala kaabula kata akuzikirize, 9 luli lwe nayambuka olusozi nfuneyo empande z'amayinja, empande ez'endagaano Omukama gye yakola nammwe, ne nsigala eyo mu lusozi ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana, nga sirya mugaati, wadde okunywa amazzi. 10 Omukama n'ampa empande bbiri ez'amayinja eziwandiikiddwa n'engalo ya Katonda. Ku zo kwaliko ebigambo byonna bye yayogera nammwe ku lusozi ng'ayima mu muliro wakati, ekibiina kyonna lwe kyakuŋŋaana. 11 Ennaku bwe zaayita amakumi ana n'ebiro amakumi ana, Omukama n'ampa empande bbiri ez'amayinja, empande ez'Endagaano. 12 Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Vva wano mangu okkirire, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri bakoze ekibi; bavudde mu kkubo lye nabalagira, bakoze ekifaananyi ekisaanuuse.’ 13 Omukama n'agamba nti: ‘Ndabye abantu bano, bantu ba nsingo nkakanyavu. 14 Ndeka mbawemmente, erinnya lyabwe ndisangule wansi w'eggulu, mu ggwe mwe nnaakola eggwanga eribakira amaanyi n'obunene.’ 15 “Ne nzikirira ne nva ku lusozi olwali lubuubuuka omuliro; nali nkutte mu mikono gyange empande ebbiri ez'Endagaano. 16 Bwe natunula nti: ne ndaba nga mukoze ekibi ew'Omukama Katonda wammwe, nga mwekoledde akayana akasaanuuse ak'okusinza. Mwali muvudde mangu ku kkubo ly'Omukama lye yali abalagidde. 17 Kwe kuddira empande zombi ne nzikasuka eri ne zaatikayatika obulere awo mu maaso gammwe. 18 Ne nziramu ne neeyala mu maaso g'Omukama ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana, nga sirya mmere wadde okunywa amazzi, olw'okubeera ebibi byamwe byonna; mwayonoona mu maaso g'Omukama, ne mumunyiiza. 19 Natya obusungu bw'Omukama n'obuswandi bwe, kubanga yali abanyiigidde n'okutuusa okubazikiriza. Ne ku mulundi ogwo Omukama yampulira. 20 Omukama yasunguwalira nnyo ne Aroni kumpi kumuzikiriza; ne Aroni naye ne mmusabira ku olwo. 21 Nakwata ekibi kyammwe kye mwali mukoze, kwe kugamba nti akayana, ne nkookya mu muliro, ne nkaseseggula, ne nkasaamu olusennyente okutuusa nga kafuuse enfuufu ey'olufufugge, ne ngiyiwa mu mugga ogwali gukulukuta nga guva mu lusozi. b. Okujeema kwabwe awalala mu ddungu 22 “Era n'e Tabera, e Massa, n'e Kiburoti Attaava mwasunguwaza Omukama. 23 N'Omukama lwe yabasindika muve e Kadesi-Baruneya n'abagamba nti: ‘Mwambuke, mutwale ensi gye nabawa.’ Naye mwajeemera ekiragiro ky'Omukama Katonda wammwe; temwamukkiriza era temwamuwuliriza. 24 Bulijjo mujeemera Omukama, okuva lwe nasooka okubamanya. 25 “Neeyala wansi mu maaso g'Omukama ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana; neeyala wansi bwe ntyo kubanga Omukama yali agambye okubazikiriza. 26 Ne nsaba ew'Omukama nti: ‘Omukama Katonda, tozikiriza bantu bo, obusika bwo, bwe wanunula n'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'omukono gwo ogw'amaanyi. 27 Jjukira abaweereza bo Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo. Totunuulira bukalubo bwa bantu bano, obwonoonefu bwabwe n'ekibi, 28 sikulwa ng'ab'omu nsi gye watuggya bagamba nti: “Omukama yalemwa okubayingiza mu nsi gye yabasuubiza; kubanga yali abakyaye, kyeyava abaggyayo, abattire mu ddungu.” 29 Naye bano bantu bo, busika bwo, be waggyayo n'amaanyi go amangi n'omukono gwo omugolole.’ |
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.
Bible Society of Uganda