Et 7 - BIBULIYA ENTUKUVU1 “Omukama Katonda wo bw'alimala okukuyingiza mu nsi gy'ogenda okutwala, ng'akugobeddewo amawanga amangi: Abakitti, Abagirugasi, Abaamori, Abakanaani, Abaperizzi, Abakivi n'Abayebusi, amawanga omusanvu agakusinga obunene n'entiisa, 2 Omukama Katonda wo ng'amaze okugakuwa mu mikono gyo, ng'obakuba, obazikiririzanga ddala, tokolanga nabo ndagaano, era tobakwatirwanga kisa. 3 Temuwasaŋŋananga; bawala bo tobafumbizanga batabani baabwe, ne bawala baabwe tobawasizanga batabani bo, 4 kubanga bagenda kukyamya batabani bo, balekeyo okungoberera, baweereze balubaale abagwira, amangu ago obusungu bw'Omukama bugenda kubeesererako bubazikirize. 5 Wabula bino bye mubakolanga: emyaliiro gyabwe mugimenyangawo, amayinja ge baasimba mugaasaayasanga, empagi zaabwe eza Asera muzitemanga, n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale mubyokyanga. 6 Kubanga ku Mukama Katonda wo oli ggwanga lye ttukuvu. Ggwe Omukama Katonda wo yakulonda n'akwebonanya obeere eggwanga lye, ekkula lye, mu mawanga gonna agali ku nsi. Katonda yabasiima busiimi ku lulwe 7 “Omukama yabaagala n'abalonda si kubanga nti mu mawanga gonna mmwe mwali musinga obunene, mu mazima mmwe mwali musinga obutono. 8 Naye kubanga Omukama yabaagala, n'olw'okukwata kye yalayirira bajjajjammwe, yabaggyayo n'omukono ogw'amaanyi, n'akununula mu nnyumba ey'obuddu, mu mikono gya Faraawo kabaka w'e Misiri. 9 Manya nti Omukama Katonda wo yennyini ye Katonda, Katonda omwesigwa, akuumira endagaano n'ekisa mu mazadde n'amazadde abamwagala n'abakwata ebiragiro bye. 10 Oyo yennyini amukyawa amuzikiriza, talonzalonza kusasula oyo yennyini amukyawa. 11 Kale nno kwata ebiragiro, amateeka n'ennamula bye nkulagira olwa leero obituusenga. 12 “Amateeka gano bwe muligawulira, ne mugakwatanga, ne mugatuusa, n'Omukama Katonda wo alikukuumira endagaano n'ekisa bye yalayirira bajjajjammwe. 13 Agenda kukwagala akuwe omukisa, akuwe okwala. Aliwa omukisa ezzadde ly'olubuto lwo n'ebibala by'ettaka lyo: eŋŋano, evviini ensu, n'omuzigo; aliwa omukisa obuyana bw'ente zo n'obuliga bw'omu kisibo kyo, mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo okugikuwa. 14 Oliweebwa omukisa mu mawanga gonna. Mu ggwe temuliba musajja atalina mwana na mukazi mugumba, ne mu bisolo byo temuliba kitazaala. 15 Omukama alikutaliza buli ndwadde; talikuleetera ndwadde za ntiisa ez'e Misiri ze walabako, wabula alizireetera abo bonna abakukyawa. 16 “Amawanga gonna Omukama Katonda g'aliwaayo mu mikono gyo, ogazikirizanga; togatunuulizanga ekisaasaazi, era toweerezanga balubaale baabwe, kubanga bagenda kubabeerera omutego. Amaanyi ga Katonda 17 “Oyinza okugamba mu mutima gwo nti: ‘Amawanga gano ga maanyi okutusinga, tunaasobola tutya okugagobawo?’ 18 Leka kubatya, wabula jjukira Omukama Katonda wo bye yakola Faraawo ne Misiri yonna, 19 nga bwe yakuggyayo n'ebigezo ebinene amaaso go bye gaalaba, obubonero, ebikuuno, omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole; n'amawanga gonna g'otya bw'anaagakola atyo. 20 Omukama Katonda wo alibasindikira ennumba okutuusa nga n'abo abasigalidde abaliba babeekwese bazikiridde. 21 “Tobatyanga, kubanga Omukama Katonda ali mu makkati gammwe, Katonda mukulu, wa ntiisa. 22 Omukama Katonda wo amawanga gano ajja kugagobawo mpolampola. Tajja kubaleka mugazikirize mangu mutyo, ebisolo eby'ettale bireme kubeeyongerera bungi. 23 Naye Omukama Katonda agenda kubakuwa mu mikono gyo, abaleetemu okutabukatabuka kungi okutuusa bonna lwe balizikirira. 24 Bakabaka baabwe agenda kubakuwa mu mikono gyo, amannya gaabwe ogasangulewo wansi w'eggulu; tewaliba n'omu asobola kukuziyiza; olibasanyaawo. 25 “Ebifaananyi byabwe ebya balubaale obyokyanga omuliro; teweegombanga ffeeza na zaabu abiriko, tomwetwaliranga, sikulwa ng'akufuukira omutego; kubanga Omukama Katonda wo ebyo abyenyinyala. 26 Toleetanga ekyenyinyalwa mu nnyumba yo, sikulwa nga naawe, okufaanana nga byo, osalirwa okuzikirizibwa. Obyetamirwanga ddala era n'obyenyinyala, kubanga bino bisaliddwa okuzikirizibwa. |
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.
Bible Society of Uganda