Et 6 - BIBULIYA ENTUKUVU1 “Bino bye biragiro, amateeka n'ennamula Omukama Katonda wammwe bye yandagira mbibayigirize mubikwatenga mu nsi gye musomokera Yorudani mugitwale, 2 bwe mutyo mmwe n'abaana bammwe ne bazzukulu bammwe mutyenga Omukama Katonda wammwe ennaku zonna ez'obulamu bwammwe, nga mukwata empisa n'ebiragiro byonna bye mbawa, mulyoke muwangaale. 3 Wulira, Yisirayeli, wekkaanye obituusenga, olyoke obeere bulungi, oyale nnyo mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, ng'Omukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza. 4 “Wulira, Yisirayeli: Omukama Katonda waffe yekka ye Mukama. 5 Oyagalanga Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna n'omwoyo gwo gwonna n'amaanyi go gonna. 6 Ebigambo bino bye nkulagira olwa leero, bibeerenga mu mutima gwo. 7 Obikuutiranga abaana bo, era obiddiŋŋananga ng'otudde mu nnyumba yo, ng'otambula mu kkubo, ng'ogenda okwebaka oba nga wa kazuukuka. 8 Obisibanga ku mukono gwo ng'akabonero, era obisibanga mu kyenyi kyo; 9 obiwandiikanga ku myango gy'ennyumba yo ne ku miryango gyo. 10 “Omukama Katonda wo bw'akuyingizanga mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo, nti aligikuwa, ensi ey'ebibuga ebinene, ebirungi by'otaazimba, 11 ey'ennyumba ezijjudde obugagga bwonna bw'otajjuzaamu, enzizi z'otaasima, n'ennimiro z'emizabbibu n'oliva by'otaasimba, bw'oliba omaze okulya n'okkuta, 12 wekkaanye bulungi, teweerabiranga Omukama eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu. 13 Otyanga Omukama Katonda wo, era yekka gw'oweerezanga, mu linnya lye mw'olayiriranga. Abakubiriza okunywerera ku Katonda 14 “Temugobereranga balubaale bagwira, balubaale b'amawanga agabeetoolodde. 15 Kubanga Omukama Katonda wo, oyo Katonda ali mu makkati gammwe, wa buggya, era obusungu bwe bulikwesererako akusangulewo ku nsi. 16 Temukemanga Mukama Katonda wammwe nga bwe mwakola e Massa. 17 Mukuumirenga ddala ebiragiro by'Omukama, by'ayigiriza n'amateeka ge bye yakulagira. 18 Kolanga ekituufu era ekirungi mu maaso g'Omukama, olyoke obeere bulungi, oyingire otwale ensi ennungi Omukama gye yalayirira bajjajjaabo, 19 ng'akugoberawo abalabe bo. Bw'atyo Omukama bwe yasuubiza. 20 “Gye bujja omwana wo bw'akubuuzanga nti: ‘Bino enjigiriza, amateeka n'ebiragiro Omukama Katonda waffe bye yabalagira bitegeeza ki?’ 21 omuddangamu nti: ‘Twali baddu ba Faraawo mu nsi y'e Misiri, Omukama n'atuggyayo mu Misiri n'omukono ogw'amaanyi. 22 N'akola obubonero obwewuunyisa n'ebikuuno, ebinene ate eby'entiisa mu Misiri ng'abikola ku Faraawo n'ennyumba ye yonna mu maaso gaffe. 23 N'atuggyayo, atuleete mu nsi era agituwe, ensi gye yali alayiridde bajjajjaffe. 24 Omukama n'atulagira tukwatenga amateeka gano gonna, tutye Omukama Katonda waffe, tulyoke tubeere bulungi, era atukuume nga tuli balamu, nga bwe tuli kaakati. 25 Obutuukirivu bwaffe buliba mu kino: bwe tulikwata ne tutuusa ebiragiro bino byonna mu maaso g'Omukama Katonda waffe nga ye bwe yatulagira.’ |
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.
Bible Society of Uganda