Et 5 - BIBULIYA ENTUKUVU1 Musa n'ayita Yisirayeli yenna, n'agamba nti: “Wulira, Yisirayeli, amateeka n'ebiragiro bye nnangirira mu matu gammwe olwa leero; mubiyige, mwetegeke okubituusanga. 2 “Omukama Katonda waffe yakola naffe endagaano ku Korebu. 3 Endagaano teyagikola na bajjajjaffe, wabula naffe abalamu abaliwo kaakati. 4 Omukama yayogera nammwe ku lusozi maaso ku maaso ng'ayima mu makkati g'omuliro. 5 Mu budde obwo nze nali omutabaganya wakati w'Omukama nammwe, nga mbabuulira ebigambo bye, kubanga mwali mutya omuliro ne mutayambuka ku lusozi. Yagamba nti: 6 “ ‘Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu. 7 Tobanga na balubaale we ndi. 8 Teweekoleranga kifaananyi kyole mu nfaanana y'ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, oba ekiri ku nsi wansi, oba mu mazzi ku ntobo y'ensi. 9 Tobivunnamiranga era tobiweerezanga. Kubanga nze Mukama Katonda wo, ndi Katonda ow'obuggya, mbonereza omusango gw'abazadde mu baana n'abazzukulu okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna ery'abo abankyawa. 10 Naye ngirira ekisa enkumi z'abo abanjagala era abakwata ebiragiro byange. 11 “ ‘Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo mu bitaliimu, kubanga Omukama talibala oyo akozesezza erinnya lye mu bitaliimu ng'atalina musango. 12 “ ‘Okuzanga olunaku lwa Sabbaato n'olutukuza, ng'Omukama Katonda wo bwe yakulagira. 13 Onookoleranga ennaku mukaaga n'okola emirimu gyo gyonna. 14 Naye olunaku olwomusanvu ye Sabbaato ku lw'Omukama Katonda wo. Tokolanga mulimu ku olwo, ggwe, newandibadde mutabani wo, newandibadde muwala wo, newandibadde abaddu bo abasajja n'abakazi, oba ente yo, oba endogoyi yo na buli kisolo kyo, omugwira ali naawe mu kibuga kyo; omuddu wo n'omuzaana nabo bawummuleko nga ggwe bw'okola. 15 Jjukira nga naawe wali muddu mu Misiri, Omukama Katonda n'akuggyayo n'omukono ogw'amaanyi, n'omukono omugolole. Omukama Katonda wo kyeyava akulagira otukuzenga olunaku lwa Sabbaato. 16 “ ‘Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa, ng'Omukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale era obeere wa mukisa ku nsi, Omukama Katonda wo gy'alikuwa. 17 “ ‘Tottanga. 18 “ ‘Toyendanga. 19 “ ‘Tobbanga. 20 “ ‘Towanga bujulizi bwa bulimba ku munno. 21 “ ‘Teweegombanga mukazi wa munno; teweegombanga nnyumba ya munno, wadde ennimiro ye, oba omuddu we, oba omuzaana we, oba ente ye, oba endogoyi, na buli kikye.’ 22 “Bino ebigambo Omukama bye yalangirira gye muli mu ddoboozi ekkalangufu nga mukuŋŋaanye ku lusozi, ng'ayima mu muliro wakati mu kire ne mu nzikiza ekutte; tewali kye yayongerako. Yabiwandiika ku mpande bbiri ez'amayinja, n'abimpa. Musa omutabaganya 23 “Mmwe bwe mwawulira eddoboozi eriva mu nzikiza, n'olusozi nga lwaka omuliro, bakulu bammwe bonna mu bika n'abakadde bajja gye ndi, 24 ne mugamba nti: ‘Omukama Katonda waffe atulaze obukulu bwe n'ekitiibwa kye, n'eddoboozi lye tuliwulidde mu makkati g'omuliro. Tukakasizza olwa leero nti Katonda asobola okwogera n'omuntu, omuntu n'alama. 25 Naye kati tufiira ki? Omuliro guno omungi gujja kutumalawo tufe bwe tunaayongera okuwulira eddoboozi ly'Omukama Katonda waffe. 26 Omuntu waawa eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu, ayogera ng'ayima mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'alama? 27 Ekisinga, ggwe genda owulire byonna Omukama Katonda by'ayogera, oluvannyuma ggwe onootubuulira byonna Omukama Katonda waffe by'anaaba akugambye. Tujja kubiwuliriza era tujja kubituusanga.’ 28 “Omukama yawulira bye mwali muŋŋamba, n'agamba nti: ‘Mpulidde abantu bano kye bakugamba; mu byonna bayogedde bulungi. 29 Singa nno bafuna omutima oguntya ne bakwatanga ebiragiro byange byonna bulijjo, balyoke babeere bulungi, bo n'abaana baabwe emirembe gyonna! 30 Genda obagambe nti: “Mweddireyo mu weema zammwe.” 31 Ggwe sigala wano nange, nkuwe ebiragiro, amateeka, n'ennamula by'onoobayigiriza, babituusenga mu nsi gye ndibawa bagitwale.’ 32 “Awo nno mukwatenga Omukama Katonda wammwe bye yabalagira, mubituusenga, temuwunjukanga kudda ku ddyo oba ku kkono. 33 Mutambulirenga mu ebyo Omukama Katonda wammwe bye yabalagira, lwe munaalama, ne muba bulungi, ne muwangaala mu nsi gye mugenda okutwala. |
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.
Bible Society of Uganda