Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Et 3 - BIBULIYA ENTUKUVU

1 “Ne tukyuka, ne twambuka nga tukutte ekkubo eriraga mu Basani; Ogi kabaka w'e Basani n'avaayo n'eggye lye lyonna okutusisinkana mu lutalo e Edureyi.

2 Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Tomutya, kubanga mmuwaddeyo mu mikono gyo n'eggye lye lyonna n'ensi ye. Mukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abaamori, eyabeeranga mu Kesuboni.’

3 Omukama Katonda waffe n'atuwa mu mikono gyaffe ne Ogi kabaka w'e Basani n'eggye lye lyonna; ne tubakuba bonna obutalekaawo n'omu yawonawo.

4 Mu budde obwo ebibuga bye byonna ne tubiwamba. Tewali kibuga kye tutaabawambako ku bibuga enkaaga, ensi yonna ey'e Arugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani.

5 Ebibuga bino byonna byaliko bbugwe omuwanvu, enzigi n'emiyingo; era waaliyo n'obubuga bungi nnyo obutaaliko bbugwe.

6 Ne tubazikiririza ddala obutalekaawo nga bwe twali tukoze Sikoni kabaka w'e Kesuboni, ne tusaanyaawo abasajja, abakazi n'abaana abato abaali mu bibuga.

7 Naye ebisolo by'awaka n'ebintu ebyanyagibwa mu bibuga twabyetwalira.

8 “Bwe tutyo mu budde obwo bakabaka ababiri ab'Abaamori, twabawambako ensi yaabwe emitala wa Yorudani, okuva ku Kiwonvu Arunoni okutuukira ddala ku lusozi Kerumoni.

9 [Abasidoni olusozi Kerumoni baaluyitanga Siriyoni, ate Abaamori nga baluyita Seniri.]

10 Twawamba ebibuga byonna ebyali mu museetwe, n'ensi yonna eya Gileyaadi ne Basani okutuukira ddala ku Saleka ne Edureyi, ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani.

11 [Ogi kabaka w'e Basani yekka ye yali akyasigaddewo ku Barefa. Ekitanda kye eky'ekyuma kyalina emikono mwenda mu buwanvu ate ena mu bugazi. Kikyaliyo e Rabba mu Bammoni.]


Okugabanyaamu ensi y'emitala wa Yorudani

12 “N'eyo ensi ne tugitwala. Ebitundu ebyo ne mbiwa ab'ekika kya Rubeni n'ekya Gaadi okuva ku Aroweri, ekiri ku lubalama lw'Ekiwonvu Arunoni, n'ekitundu ky'ensozi za Gileyaadi n'ebibuga byamu.

13 Ekitundu ekyasigalawo ekya Gileyaadi ne Basani yenna, obwakabaka bwa Ogi, nakiwa ekyokubiri ky'ekika kya Manasse. [Ensi yonna eya Arugobu ne Basani yenna byali bimanyiddwa nga nsi y'Abarefa.]

14 Yayiri muzzukulu wa Manasse yafuna ensi ya Arugobu yonna okutuuka ku nsalo n'Abagessuri n'Abamaakati, n'atuuma Basani erinnya lye Kavvoti-Yayiri, era bwe kikyayitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.

15 Makiri ne mmuwa Gileyaadi.

16 N'ab'ekika ekya Rubeni n'ekya Gaadi ne mbaawuliza ku nsi okuva e Gileyaadi okutuuka ku Kiwonvu Arunoni, n'okweyongerayo okutuuka ku Kiwonvu Yabboki ekikola ensalo n'Abammoni:

17 Ensalo zaabwe okudda ebuvanjuba nga gwe mugga Yorudani okuviira ddala ku Kinnereti n'okukkira ddala okutuuka ku nnyanja ya Araba, Ennyanja y'Omunnyo, ne wansi w'enkonko za Pisuga.

18 “Mu budde obwo nabalagira ne mbagamba nti: ‘Omukama Katonda wammwe abawadde ensi eno, mugitwale. Naye mwenna abasajja abeesobola nga mubagalidde ebyokulwanyisa, mukulemberemu baganda bammwe Abayisirayeli.

19 Bo bakazi bammwe, abaana n'ebisolo byammwe, anti mmanyi nti mulina amagana mangi, bijja kusigala mu bibuga bye nabawa,

20 okutuusa Omukama lw'aliwa baganda bammwe ekiwummulo nga bw'akiwadde mmwe, nabo ne bafuna ensi Omukama Katonda wammwe gy'alibawa emitala wa Yorudani; olwo buli omu aliddayo mu kitundu kye kye namuwa.’


Musa agaanibwa okusomoka Yorudani

21 “Mu budde obwo ne Yoswa namulagira nti: ‘Amaaso go galabye Omukama Katonda wammwe by'akoze bakabaka bano ababiri; bw'alikola bw'atyo obwakabaka bwonna gy'oliraga ng'osomose.

22 Tobatya, kubanga Omukama Katonda wammwe y'alirwana mu kifo kyammwe.’

23 “Mu budde obwo nawanjagira Omukama ne ŋŋamba nti:

24 ‘Ayi Mukama Omuyinza, otandise okwoleka omuweereza wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga lubaale ki mu ggulu ne mu nsi asobola okukola by'okola, n'okwegeranya ku by'amaanyi by'okola?

25 Mpa nange nsomoke, ndabe ku nsi eno ennungi ey'emitala wa Yorudani, n'ensi ey'ensozi ne Lebanoni.’

26 Naye olw'okubeera mmwe Omukama n'ansunguwalira, teyampuliriza, yaŋŋamba bugambi nti: ‘Ekyo kimala. Toddayo n'oyogera nange ku kigambo ekyo.

27 Yambuka ku ntikko ye Pisuga oyiseeyise amaaso go ebugwanjuba, emambuka, emaserengeta n'ebuvanjuba; ensi girengerere awo anti tojja kusomoka Yorudani ono.

28 Tongoza Yoswa, mukalangule, omugumye, kubanga y'anaasomosa eggwanga lino, era y'alibagabira ensi gy'onoolaba.’

29 “Awo nno ne tusigala awo mu kiwonvu okumpi ne Beti-Pewori.

BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies