Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Et 19 - BIBULIYA ENTUKUVU

1 “Omukama Katonda wo bw'alimala okuzikiriza amawanga agali mu nsi gy'agenda okukuwa ebeere eyiyo, nga naawe omaze okubagobawo n'obeera mu bibuga byabwe ne mu mayumba gaabwe,

2 weeyawulirangako ebibuga bisatu mu makkati g'ensi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa ogitwale.

3 Okolanga enguudo ezigendayo; ensi yo yonna Omukama gy'akuwa ng'obusika, n'ogisalamu ebitundu bisatu ebyenkanankana, oli asse omuntu gy'asobola okuddukira.

4 “Lino lye tteeka ku muntu asse munne bw'aba addukiddeyo okwewonya: Oli attanga munne mu butanwa nga tebwali bukyayi mu kusooka oba mu kugenderera,

5 okugeza, ng'oli agenze ne munne mu kibira okutema emiti, bw'awuuba embazzi, omutwe gw'embazzi ne guweekuka ku muyini ne gukuba munne n'afa, oyo addukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, n'awona.

6 Kubanga oli awoolera olw'omusaayi, olw'essungu akyayinza okumuwondera, olw'olugendo okuba oluwanvu n'amukwata, n'amukuba n'afa sso nga taliiko musango gwa kutta, kubanga teyamutta mu bugenderevu oba lwa bukyayi mu kusooka.

7 Kale nno kyenva nkulagira mweyawulirewo ebibuga bisatu.

8 “Omukama Katonda wo bw'alikugaziyiza ensalo zo, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, n'akuwa ensi yonna gye yabasuubiza,

9 nga naawe okuumye bulungi etteeka lino lyonna lye nkulagira olwa leero: okwagala Omukama Katonda wo, n'okutambulira mu makubo ge obudde bwonna, oyongerangayo ebibuga ebirala bisatu, n'oyongereza ku biri ebisatu.

10 Olwo omusaayi ogutaliiko musango teguliyiibwa mu nsi Omukama Katonda wo gy'alikuwa ng'obusika; oleme kuvunaanibwa gwa kuyiwa musaayi.

11 “Naye ng'omuntu akyaye munne, amala amwekwekerera, n'amukuba n'afa, oluvannyuma n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo,

12 abakadde b'omu kibuga kye batumyanga ne bamukomyawo okuva mu kibuga, ne bamukwasa awoolera eggwanga olw'omusaayi afe.

13 Tomusaasiranga; okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango kuteekwa okuggyirwawo ddala mu Yisirayeli, olyoke obeere bulungi.


Obwenkanya

14 “Tosembezangayo ejjinja erisala ensalo y'ettaka ne muliraanwa wo bajjajjaabo lye balisimba mu busika bw'olifuna mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa ogitwale.

15 “Omujulirwa omu tamala kusingisa muntu musango oba kibi ky'akoze, kibeere kya ngeri ki; ekigambo kikakasibwa n'obujulizi bwa bajulizi babiri oba basatu.

16 “Omujulirwa ow'ettima bwe yeesimbangawo okulumiriza omuntu omusango,

17 bombi alumiriza n'omuwawaabirwa bayimiriranga mu maaso g'Omukama awali bakabona n'abalamuzi ababangawo mu budde obwo.

18 Abalamuzi babuulirizanga ne bayitaayita mu nsonga zonna, omujulirwa bw'abanga omulimba, obujulizi bwe ku muganda we nga bwa bulimba,

19 mumukolanga nga bw'abadde ayagala okukola muganda we. Ekibi kino oteekwa okukiggyirawo ddala mu ggwe.

20 Abalala bwe baliwulira, bagenda kutya, tebaliddayo kukola bifaanana bityo mu ggwe.

21 Tomusaasiranga; obulamu olw'obulamu, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, ekigere olw'ekigere.

BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies