Et 17 - BIBULIYA ENTUKUVU1 “Omukama Katonda wo tomutambiriranga ndiga oba nte eriko akamogo oba enkeka yonna, kubanga ekyo Omukama Katonda wo akyenyinyala. 2 “Mu bibuga byo Omukama Katonda wo by'alikuwa bwe musangibwangamu omusajja oba omukazi, omu ku mmwe, akola ekibi mu maaso g'Omukama Katonda wo, ng'amenya endagaano ye, 3 n'asinza balubaale n'abavunnamira, oba n'avunnamira enjuba, omwezi oba eby'eggye ly'eggulu byonna nze bye ssaabalagira, 4 kino ne bakikubuulirako, okibuulirizangako bulungi ddala. Bwe kiba nga kituufu era nga kikakafu nti ekyenyinyalwa ekyo kyakolebwa mu Yisirayeli, 5 omusajja oba omukazi eyakola ekibi ekyo omufulumyanga ebweru wa wankaaki n'omuttira eyo n'amayinja. 6 Omuntu okuttibwanga wateekwa okubaawo obujulizi bwa bantu b'ekibuga kyo babiri oba basatu obumulumiriza; mpaawo attibwanga ng'alumiriziddwa omujulirwa omu yekka. 7 Mu kumutta, omukono gw'amulumiriza gwe gumusookangako, olwo n'emikono gy'abalala. Ekibi kino muteekwa okukiggyirawo ddala mu mmwe. Abalamuzi Abaleevi 8 “Singa emisango egireetebwa mu mbuga zammwe mubeerangamu ogukulemeredde okulamula, ng'egy'okuyiwa omusaayi, okusoowagana, n'okulwanagana, ogitwalanga mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze. 9 Gitwale ewa bakabona Abaleevi n'eri omulamuzi aliwo mu budde obwo; obeebuuzangako, bo balikusalirawo. 10 Okolanga nga bwe bakugambye nga bayima mu kifo ekyo Omukama kye yalonda. Wekkaanye, bye bakusabanga okukola obituukirizanga. 11 Bye babanga bakulagidde n'ensalawo yaabwe by'okolerangako; towunjukanga kudda ku ddyo oba ku kkono n'ova ku bye bakugambye. 12 Bwe wabangawo eyeekuluntaza n'anyooma omulamuzi oba kabona aweereza Omukama Katonda wo mu budde obwo, omuntu oyo attibwanga buttibwa. Ekibi kino kirina okuggyibwawo mu Yisirayeli. 13 Abantu bonna balikiwulira ne batya, tebaliddayo kwekuza. Bakabaka 14 “Bw'oliyingira ensi Omukama Katonda wo gy'alikuwa, n'ogitwala, n'ogibeeramu, ekirowoozo kimala kikujjira nti: ‘Ka neeteerewo kabaka, ng'amawanga gonna aganneetoolodde bwe gamulina,’ 15 wekkaanye, oyo yekka Omukama Katonda wo gw'aliba akulondedde ng'amuggya mu baganda bo, gw'ofuulanga kabaka. Togezanga n'olonda omugwira, atali muganda wo, okuba kabaka wo. 16 “Kyokka teyeekuŋŋaanyizanga mbalaasi nkumu, era tazzanga bantu mu Misiri bamufunireyo endala okusingawo, kubanga Omukama yabagaana dda nti: ‘Temugezanga ne muddayo eyo.’ 17 Tawasanga bakazi bangi, omutima gwe guleme kuwubisibwa; era teyeekuŋŋaanyizanga butitimbe bwa ffeeza ne zaabu. 18 Bw'amalanga okutuula ku nnamulondo y'obwakabaka bwe, yeewandiikiranga etteeka lino mu kitabo okuva ku bakabona Abaleevi. 19 Abeeranga nakyo, n'akisomanga ennaku zonna ez'obulamu bwe, alyoke ayige okutya Omukama Katonda we, n'okutuusa ebigambo by'etteeka lino n'ebiragiro byonna, 20 aleme kwekuliza ku baganda be, n'awunjuka ng'adda ku ddyo oba ku kkono n'ava ku tteeka. Olwo ye n'abaana be lwe baliwangaala nga balamula obwakabaka bwe mu Yisirayeli. |
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.
Bible Society of Uganda