Et 16 - BIBULIYA ENTUKUVU1 “Okuzanga omwezi gwa Abibu, n'okuza Pasika y'Omukama Katonda wo, kubanga mu mwezi gwa Abibu Omukama Katonda wo lwe yakuggya mu Misiri ekiro. 2 Otambiranga Pasika y'Omukama Katonda wo ng'oggya mu ggana lyo ne mu kisibo kyo, mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye. 3 Toliirangako mugaati guzimbulukuse; okumala ennaku musanvu onoolyanga migaati egitazimbulukuse, omugaati gw'okubonaabona, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu. Bw'otyo, ennaku zonna ez'obulamu bwo, ojjukirenga olunaku lwe wava mu Misiri. 4 Wonna mu nsi yo, okumala ennaku musanvu temulabikangamu kizimbulukusa. Ennyama etambirwanga akawungeezi k'olunaku olusooka, tesulangawo okutuusa enkeera. 5 Totambiranga Pasika mu buli kibuga kyo Omukama Katonda wo ky'aliba akuwadde, 6 wabula mu kifo kyokka Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye. Eyo gy'otambiriranga Pasika akawungeezi enjuba ng'egwa, ku lunaku lw'ojjuukirirako okuva kwo mu Misiri. 7 Ogifumbiranga mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze era mw'ogiriiranga; ku makya ositukanga n'odda mu weema zo. 8 Okumala ennaku musanvu onoolyanga migaati egitazimbulukuse; ku lwomusanvu oyitanga olukuŋŋaana olw'ekitiibwa olw'Omukama Katonda wo; tokolanga mulimu. Embaga ya Wiiki 9 “Okuva ku lunaku lw'osooka okussa ekiwabyo ku ŋŋano ekyayimiridde, obalanga wiiki musanvu, 10 n'okuza embaga ya Wiiki olw'Omukama Katonda wo, ng'oweereza ekitambiro ekyeyagalire ng'ogerera ku Mukama Katonda wo nga bw'aliba akuwadde omukisa. 11 Osanyukiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo, ggwe, mutabani wo, muwala wo, omuddu wo, omuzaana wo, n'Omuleevi ali mu bibuga byo, omugwira, enfuuzi, ne nnamwandu abali ewuwo, mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze ng'ekisulo ky'erinnya lye. 12 Ojjukiranga nga naawe wali muddu mu Misiri. Wekkaanye, amateeka gano ogatuusanga. Embaga y'Ensiisira 13 “Bw'omalanga okukuŋŋaanya by'okungudde eby'egguuliro lyo n'essogolero lyo, okuzanga embaga y'Ensiisira okumala ennaku musanvu, 14 ng'olya embaga eno, ojaguzanga n'essanyu, ggwe, omwana wo, mutabani wo, omuddu wo, omuzaana wo, Omuleevi, omugwira, enfuuzi ne nnamwandu abali mu bibuga byo. 15 Omalanga ennaku musanvu ng'okuliza Omukama Katonda wo embaga eno mu kifo Omukama ky'aliba alonze, kubanga Omukama Katonda wo alikuwa omukisa mu bibala byo byonna ne mu mirimu gyonna egy'emikono gyo; oliba mu ssanyu jjereere. 16 “Buli musajja yenna, aneeyolekanga emirundi esatu buli mwaka mu maaso g'Omukama Katonda wo, mu kifo ky'aliba alonze, ku mbaga ey'Emigaati Egitazimbulukuse, ku mbaga eya Wiiki, ne ku mbaga ey'Ensiisira. Tajjanga mu maaso g'Omukama engalo ensa, 17 wabula buli omu aleetanga ekirabo okugerera ku by'alina, ng'Omukama Katonda wo bw'aliba akuwadde omukisa. Abalamuzi 18 “Mu bibuga byo byonna Omukama Katonda wo by'aliba akuwadde, buli kika kyo okironderanga abalamuzi n'abaami; balamulanga abantu mu butuufu. 19 Tosalirizanga; teweekubiiranga; tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g'abagezi, era egootaanya ensonga z'abatuukirivu. 20 Ogobanga butuufu, butuufu bwokka, olyoke obeere mulamu, otwale n'ensi Omukama Katonda wo gy'akuwa. Eby'obukaafiiri eby'okwewala 21 “Teweesimbiranga mpagi za Asera oba omuti gwonna okumpi n'omwaliiro gw'Omukama Katonda wo gw'oliba omuzimbidde, 22 era tosimbanga mpagi ya jjinja. Omukama Katonda wo bino abikyawa. |
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.
Bible Society of Uganda