Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Et 13 - BIBULIYA ENTUKUVU

1 “Ebigambo byonna bye mbagambye mulabe nti mubituusanga; toyongerangako era tokendeezangako kantu n'akamu.


Atasinza Mukama wa kuttibwa

2 “Mu mmwe bwe musitukangamu omulanzi, oba omuloosi w'ebirooto n'akola akabonero oba ekyewuunyo,

3 akabonero oba ekyewuunyo ky'ayogedde ne kituukirira, n'akugamba nti: ‘Tugende tugoberere balubaale, tubaweereze,’ balubaale b'otomanyangako,

4 towulirizanga bigambo bya mulanzi oyo oba omuloosi, kubanga Omukama Katonda wammwe abeera abageza bugeza, alabe oba mumwagala n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna.

5 Omukama Katonda wammwe yekka gwe mubanga mugoberera, gwe mubanga mutya. Mukwatenga ebiragiro bye, muwulirizenga eddoboozi lye; oyo gwe mubanga muweereza, gwe mubanga munywererako.

6 Omulanzi oli, oba oyo omuloosi w'ebirooto, attibwanga, kubanga ayogera ebyo mujeemere Omukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu; akusendasenda kukuggya mu kkubo Omukama Katonda wo lye yakulagira. Ekibi kino mukiggyirangawo ddala mu mmwe.

7 “Singa muganda wo, oba omwana wo, oba muwala wo, oba mukazi wo ow'omu mikono gyo, oba mukwano gwo bwe muli ekimu, akusendasenda mu nkiso nti: ‘Tugende tuweereze balubaale,’ balubaale b'otaamanya ggwe ne kitaawo,

8 balubaale ab'amawanga agakwetoolodde, ag'okumpi n'ag'ewala, okuva ku nsonda emu ey'ensi okutuuka ku ndala,

9 tomugonderanga era tomuwulirizanga. Tomusaasiranga, togezangako kumuwonya oba kumuzibira,

10 wabula ottanga mutte. Mu kumutta omukono gwo gwe gumusookangako n'oluvannyuma emikono gy'abantu bonna.

11 Omukubanga amayinja n'attibwa, kubanga yali akusendasenda kukuggya ku Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.

12 Olwo Yisirayeli yenna aliwulira n'atya, ne wataddayo kubaawo mulala yenna mu ggwe akola ekibi ekifaanana kityo.

13 “Bw'owuliranga mu kibuga ekimu, ku ebyo Omukama Katonda wo by'alikuwa okubeeramu, nga bagamba nti:

14 ‘Abantu empongabyoya basituse mu ggwe, ne basendasenda ab'omu kibuga kyabwe nga babagamba nti: “Tugende tuweereze balubaale,” ’ balubaale be mutamanyangako,

15 onoonyerezanga n'obuuliriza mu byonna; bw'ozuulanga nga kituufu, nti ekyogerwa kikakafu, ddala ekyenyinyalwa ekyo kyakolerwa mu ggwe,

16 ab'omu kibuga ekyo bonna obattanga bussi n'ekitala, n'okizikiriza, buli kirimu, abantu n'ebisolo byabwe.

17 Omunyago gwamu gwonna ogukuŋŋaanyizanga wakati mu mbuga y'ekibuga, awo ekibuga n'omunyago gwamwo n'obyokera wamu byonna n'omuliro ng'ekitambiro ekyokere Omukama Katonda wo. Ekibuga kya kusigala ntuumu ya mirembe gyonna era tekiriddamu kuzimbibwa.

18 Tewabanga ku kintu na kimu ku ebyo ebisaliddwa okuzikirizibwa kisangibwanga naawe, Omukama alyoke aleke obusungu bwe obwesera, akusaasire, akuwe okwala nga bwe yalayirira bajjajjaabo,

19 bw'oliba owulidde eddoboozi ly'Omukama Katonda wo n'okwatanga ebiragiro bye byonna bye nkulagira olwa leero, n'okola ekituufu mu maaso ge.

BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies