Et 10 - BIBULIYA ENTUKUVU1 “Mu budde obwo Omukama yaŋŋamba nti: ‘Bajjayo empande bbiri ez'amayinja eziri nga ziri ezaasooka, oyambuke gye ndi mu lusozi. Bajjayo n'essanduuku ey'omuti. 2 Nzija kuwandiika ku mpande ebigambo ebyali ku ziri ezaasooka ze wayasa, empande ozisse mu ssanduuku.’ 3 Awo kwe kukola ssanduuku mu muti ogw'akasaana. Bwe namala okubajja empande ez'amayinja bbiri eziri nga ziri ezaasooka, ne nnyambuka olusozi nga nzirina mu mikono gyange. 4 Omukama n'awandiika ku mpande, nga bwe yali awandiise ku ziri, Ebigambo Ekkumi Omukama bye yali abagambye ku lusozi ng'ayima mu muliro wakati abantu nga bakuŋŋaanye; n'azimpa. 5 Bwe nakomawo nga nvudde ku lusozi, empande ne nzissa mu ssanduuku gye nali nkoze ng'Omukama bwe yandagira; kati ziri omwo. 6 “Abayisirayeli ne bava e Beeroti-Bene-Yakani ne balaga e Mosera. Eyo Aroni gye yafiira era n'aziikibwa; Eleyazari mutabani we n'amusikira ku bwakabona. 7 Bwe baava e Mosera ne balaga e Gudugoda; bwe baava eyo ne balaga e Yotubata mu nsi erimu obugga bw'amazzi obungi. 8 Mu budde obwo Omukama yayawula ekika kya Leevi kye kiba kyetikkanga Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama, era nga kye ky'okuyimiriranga mu maaso ge okuweereza, n'okuwa omukisa mu linnya lye, bye bakyakola n'okutuusa ku lunaku lwa leero. 9 Leevi kyeyava tafuna mugabo oba busika wamu na baganda be, kubanga Omukama yennyini bwe busika bwe, ng'Omukama Katonda wo bwe yabagamba. 10 “Nze nasigala eyo ku lusozi ng'olubereberye ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana; ne ku mulundi ogwo Omukama yampuliriza, teyayagala kukuzikiriza. 11 N'aŋŋamba nti: ‘Situka, genda okulembere abantu bayingire batwale ensi gye nalayira okuwa bajjajjaabwe.’ Batayirire emitima 12 “Kale nno, Yisirayeli, Omukama Katonda wo akusaba ki? Si kirala, wabula okumutya oyo Omukama Katonda wo, okutambulira mu makubo ge gonna, okumwagala, okumuweereza oyo Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, 13 n'okukwatanga ebiragiro by'Omukama n'amateeka ge bye nkulagira olwa leero ku lw'obulungi bwo. 14 “Eggulu, n'eggulu erisukkiridde waggulu, ensi na byonna ebigirimu bya Mukama Katonda wo. 15 Naye Omukama yasiima bajjajjaabo n'abaagala; mmwe bazzukulu baabwe n'abalonda, n'abasukkulumya amawanga gonna, nga bwe kiri kaakati. 16 Kale nno mutayirire emitima gyammwe, temwongera kugugubya mitima gyammwe wadde okukakanyaza ensingo zammwe, 17 kubanga Omukama Katonda wammwe ye Katonda wa balubaale, ye Mukama w'abakama, Katonda omukulu, wa buyinza, wa ntiisa, teyeekubiira era talya nguzi. 18 Awolereza mulekwa ne nnamwandu, ayagala omugwira n'amuwa ekyokulya n'ekyokwambala. 19 Nammwe nno mwagalenga abagwira, kubanga mwali bagwira mu nsi y'e Misiri. 20 Otyanga Omukama Katonda wo, n'omuweerezanga, onywereranga ku ye era mu linnya lye mw'olayiriranga. 21 Yennyini lye ttendo lyo, ye Katonda wo, eyakukolera ebinene n'eby'entiisa amaaso gammwe bye gaalaba. 22 Bajjajjaabo okuserengeta e Misiri baali abantu nsanvu, naye laba kati Omukama Katonda wo akuwadde okwala okwenkana emmunyeenye z'eggulu obungi. |
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.
Bible Society of Uganda