Aanlyn Bybel

- Advertensies -

Abalam 12 - BIBULIYA ENTUKUVU

1 Abantu b'omu Efurayimu ne bakunga eggye, ne basomoka ne balaga e Zafoni, ne bagamba Yefuta nti: “Lwaki wagenda okulwanyisa Abammoni n'ototuyita kugenda naawe? Tugenda kukwokera mu nnyumba yo.”

2 Yefuta n'abagamba nti: “Nze n'abantu bange tubadde ku mbiranye nnyo n'Abammoni; nabalaajanira, naye temwajja kumponya mu mikono gyabwe.

3 Nalaba temunnyamba, ne ntunda omwoyo, ne nsomoka okulumba Abammoni; ekirungi Omukama n'annyamba ne mbawangula. Kati lwaki muzze okunnwanyisa?”

4 Awo Yefuta n'ayita abasajja bonna ab'omu Gileyaadi n'alwanyisa Efurayimu. Abasajja b'omu Gileyaadi ne bakuba Abeefurayimu, kubanga Abeefurayimu baali babagambye nti: “Mmwe Abagileyaadi muli mmomboze mu Efurayimu ne Manasse; mwadduka kuva mu Efurayimu.”

5 Abagileyaadi ne bakwata emisomoko gy'oku Yorudani egisomosa mu Efurayimu. Oli mu bakaawonawo mu Efurayimu bwe yagambanga nti: “Ka nsomoke,” ng'abasajja b'omu Gileyaadi bamubuuza nti: “Oli Mwefurayimu?” Bwe yagaananga nti “Nedda,”

6 nga bamugamba nti: “Kale gamba nti: ‘Shibboleti,’ ” ye ng'agamba nti: “Sibboleti,” kubanga yali tasobola kukyatula bulungi; nga bamukwata nga bamuttira awo wennyini ku misomoko gy'oku Yorudani. Mu budde obwo emitwalo ena mu enkumi bbiri be baafa mu Efurayimu.

7 Yefuta Omugileyaadi yalamula Yisirayeli emyaka mukaaga; Yefuta Omugileyaadi n'afa, n'aziikibwa mu kibuga Gileyaadi.


J. YIBUZANI

8 Ng'avuddewo, Yibuzani ow'omu Beteleemu n'alamula Yisirayeli.

9 Yalina batabani be amakumi asatu ne bawala be amakumi asatu. Yafumbiza bawala be ebweru w'ekika kye, ne batabani be n'abawasiza abakazi ng'abaggya mu bika ebirala. Yalamula Yisirayeli okumala emyaka musanvu.

10 Yibuzani n'afa n'aziikibwa e Beteleemu.


K. ELONI

11 Ng'avuddewo, Eloni Omuzebuluni n'alamula Yisirayeli okumala emyaka kkumi.

12 Eloni Omuzebuluni n'afa n'aziikibwa mu Ayijaloni eky'omu Zebuluni.


L. ABUDONI

13 Ng'avuddewo Abudoni mutabani wa Yileli ow'omu Piratoni n'alamula Yisirayeli.

14 Yalina abaana abalenzi amakumi ana n'abazzukulu amakumi asatu, nga beebagala endogoyi nsanvu. Yalamula Yisirayeli emyaka munaana.

15 Abudoni mutabani wa Yileli n'afa n'aziikibwa e Piratoni mu Efurayimu, mu nsozi z'Abaamaleki.

BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

Bible Society of Uganda
Volg ons:



Advertensies